
Ven. Gita
Bya MOSES NSUBUGA
ABAKRISTAAYO b’e Lukuli banaabidde Ssaabadinkoni mu maaso bwe beebegugunze ne baggala ekkanisa nga balumiriza nti simwerufu mu by’akola.
Bino byagudde mu kkanisa ya St. Stephen e Lukuli Makindye Abakristaayo bwe baatabukidde Ssaabadinkoni w’e Mengo Ven. John Gita Kavuma olw’okukyusa Ordinand Elijah Kyobe ne bamusengula kiro nga tabasiibudde.
Ku Ssande, baakedde kwekumamu muliro ne baggala ekkanisa nga baagala okunnyonnyolwa ku byabaddewo era tebaasabidde mu kkanisa.
Enkeera ku Mmande baakedde Namirembe ew’Omulabirizi Rt, Rev. Wilberforce Kityo Luwalira ne beekubira enduulu.
Baakulembeddwa Fred Mambule (omukebezi mu kkanisa) eyategeezezza nti Ord. Kyobe abadde mwerufu nga balaba ssente zaabwe we ziraga ekibadde kireese enkulaakulana mu myezi omwenda gy’abadde nabo.
Balumirirza nti abali ku kakiiko akaddukanya ekkanisa balaba tebakyasobola kwawula ku ssente ne bamulimirira ewa Ssaabadinkoni n’amukyusa.
Mambule agamba nti ssente nnyingi ezirudde nga zibulaankanyizibwa abakulembeze abaasooka omuli n’okwagala okutunda oluggya lw’ekkanisa eri essomero eribaliraanye.
Ekirala ekibatabula ze ssente eziva mu z’ennyumba z’abapangisa. Baasonda ssente z’okugula obutimba bw’okukola olukomera ne butagulibwa ate ne ssente tebalaga gye ziri, bazimba ekkanisa naye ebikozesebwa bibulaankana era n’ezeebirabo ebikung’aanyizibwa mu kkanisa enkwata yaazo sinnambulukufu.
Ven. Gita Kavuma yategeezezza nti abawakana bakyamu kubanga emyaka mukaaga egiyise be baali mu bukulembeze.
Bakozesa omukisa okutabangula ekkanisa kubanga Omukubirirza Godfrey Muwanga Tibayire akulira akakiiko akazimba ekkanisa ali Buyindi yagenda kumujjanjaba baagala kubulaankanya ssente era yabalabudde nti tebalina buyinza kuggala kkanisa nga bwe baakoze.
Abeemulugunya baasazeewo okuggala ekkanisa n’okuyiwa olukiiko ng’ensonga baazirambise mu kiwandiiko kye baataddeko emikono egisoba mu 150.