TOP

'Poliisi erya ssente ku babbi n'ebayimbula...'

Added 20th September 2016

Poliisi bw’ekwata abamenyi b’amateeka ate bassentebe be bakeera ku poliisi okubawolereza n’okwegayirira babate kuba be baakutte ssi bakyamu.

 Jackline Kakooza baamuyingiridde ne bamutema.

Jackline Kakooza baamuyingiridde ne bamutema.

Bya VIVIEN NAKITENDE

ABATUUZE, LC ne poliisi mu miruka Mutundwe ne Kabowa buli omu alumirizza munne okusiba obubbi n’obumenyi bw’amateeka mu bitundu. Baabadde mu lukiiko lwabyawerinda olwatudde ku ssomero lya Kitebi P/S e Kitebi wiiki ewedde.

Lwetabiddwaamu poliisi y’ekitundu ey’e Kitebi, Mutundwe n’ey’e Nateete ezitwala, abatuuze ne bassentebe b’ebitundu ssaako abayambi ba poliisi aba ‘Crime Preventers’.

Abatuuze baalumirizza poliisi okusiba obubbi n’ettemu mu kitundu nga bagamba nti babaloopera ababbi naye olubakwata ate babaggyamu buggya ssente nga baabayimbula nga batandikira we baakomye mu kutigomya ekyalo.

Abatuuze era baanokoddeyo obubbi obw’abantu abeeyambisa ebijambiya nti ensangi zino beeriisa nkuuli ng’olumu bava nju ku nju okubba n’okutema abantu. Omwezi oguwedde, abatuuze baagambye nti ababbi baalumbye Kitebi ne banyaga abatuuze abasukka mu 10 ne baleka nga babatemye. Mu baalumbiddwa mwe muli ne Claire Nandase, omusomesa ku Kitebi SS.

Abamu ku batuuze abeetabye mu lukiiko.

 

Wiiki ewedde, Muky. Jackline Kakooza baamuyingiridde ne bamutema omukono nga kati apooca mu ddwaaliro e Lubaga. Joseph Mugerwa omutuuze w’e Kitebi, yalumirizza ba ‘Crime Preventers’ okwenyigira mu bubbi nti bakozesa emmundu okutiisa abantu ne babanyaga.

Grace Kaggwa, ssentebe wa Zooni ya Kigagga e Mutundwe yasabye poliisi okukola ebikwekweto ku banywi b’enjaga n’abagitunda kuba kati n’abaana b’amasomero bagyenyigiddemu. Cissy Makanga, ssentebe w’omuluka gw’e Kabowa yagambye nti, “poliisi ekolagana n’abamenyi b’amateeka kuba be tugikwasa ate yo kennyini y’ebayimbula.

Tusaba ekyuseemu.” Akulira poliisi y’e Kitebi, Abbey Muwonge ye yalumirizza bassentebe b’ebitundu nti be basibye obumenyi bw’amateeka mu bitundu byabwe.

Yagambye nti poliisi bw’ekwata abamenyi b’amateeka ate bassentebe be bakeera ku poliisi okubawolereza n’okwegayirira babate kuba be baakutte ssi bakyamu.

Atwala poliisi y’e Nateete, Muhammad Byansi yagumizza abatuuze ku bukuumi n’ategeeza nti agenda kuleeta abaserikale 24. Ku buli poliisi okuli ey’e Kitebi ne Mutundwe, agenda kuteekako abapoliisi 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...