TOP

Nkubakyeyo bamusse alaba

Eddie Ssesanga amanyiddwa nga EDDIE KIGERE owa Amarura Family yabaddewo ng’obutemu buno bukolebwa era attottodde ebyabaddewo ng’abasajja abaakulembeddwa Bob Kasajja batta Dennis Ssengendo 27, abadde yaakakomawo okuva ku kyeyo e Dubai.

 Abantu nga batwala omulambo gwa Ssengendo ewa nnyina eggulo mu Ndeeba.

Abantu nga batwala omulambo gwa Ssengendo ewa nnyina eggulo mu Ndeeba.

Bya HANNINGTON NKALUBO, MARTIN NDIJJO NE VIVIEN NAKITENDE

SSENGENDO baasoose kumunnyika mu nnyanja ya Kabaka ng’akyali mulamu wabula n’abbulukuka. Olwaggyeeyo omutwe, omu ku bavubuka kwe kumukuba ekiyinja mu kawompo ne yennyika mu nnyanja n’afiiramu.

Eddie Ssesanga amanyiddwa nga EDDIE KIGERE owa Amarura Family yabaddewo ng’obutemu buno bukolebwa era attottodde ebyabaddewo ng’abasajja abaakulembeddwa Bob Kasajja batta Dennis Ssengendo 27, abadde yaakakomawo okuva ku kyeyo e Dubai.

Kasajja naye yaliko ku kyeyo era baabadde bamanyiganye bulungi ne Ssengendo. Kasajja olwava e Dubai n’azimba emizigo mu Ndeeba ate oluvannyuma n’adda e Iraq era olwavaayo n’atandika okubeera mu Ndeeba kyokka nga talina mirimu gya nkalakkalira era abasinga babadde bamuyita “Crime Preventer” era obudde bungi abadde abumala ku poliisi.

Obwedda Kigere aluma amannyo ku buli kigambo ky’ayogera nga bw’akkaatiriza nti, “Nnalabye n’amaaso gange gano, abasse nkubakyeyo”.

KIGERE OWA AMARULA AYOGEDDE BYE YALABYE

Twabadde ku bbaala ya Plan B e Kabuusu nga twewaamu nga bulijjo. Ssengendo yatwegasseeko era mu mbeera nze gye mpita ey’ekisaazisaazi, yakutte Bob n’amusika ebitogi . Bob tekyamusanyusizza n’atabuka ne baagala okukubagana.

Kyokka nnabadde kumpi ne mbataasa era ne tutereera. Bonna baalabise nti bakkakkanye era Bob eyabadde alwana n’atugulirayo lawundi emu (omwenge).

Emboozi yakutte akati era Bob n’atandika okwesoma nga bwe yewaana nti ye mugagga yakola dda era alina n’ebbaala awaka. Yatugambye nti oba tuwakana twanguwe atutwale eka atulage kyeyabadde ategeeza.

Twabadde ffenna tukooye wabula obutayagala kwongera kumunyiiza ne tukkiriza. Twatambuzza bigere nga tukkirira nga ku nnyanja ya Kabaka.

Kyokka bwe yatutambuzza akabanga akawanvu, Ssengendo n’ankuba akaama nti “Naye ddala omusajja ono atutwala wa gye tutatuuka?” Yayagadde okusikattiramu naye engeri Bob gye yabadde yeeyongera okwesoma nti alina emmaali okuli ne Estate (Amayumba g’abapangisa ag’omulembe), ne tusalawo tweyongereyo tukakase.

Maama w’omugenzi nga bamukwatiridde.

 

Olwabadde okutuuka ku mayumba ga Bob yakonkonye emizigo gy’abagambibwa okuba abamu ku bapangisa. Abavubuka abaavudde mu mizigo olwakung’aanye, Bob n’atandika olutalo ku Ssengendo.

Ssengendo byamusobedde ng’alaba Bob aduumira abavubuka bamukoleko mu ngeri ey’okwesasuza kubanga yabadde (Ssengendo) ayagala okumutuusizaako obulabe mu bbaala.

Olwo essaawa zaabadde nga 10:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri. Nnagezezaako okuwooyawooya abavubuka nga mbabuulira ekituufu nti ffenna tuli ba mukwano nga tebawuliriza.

Baalabise ng’abaabadde bamuvuddeko kyokka omu ku bavubuka n’akwata enkofiira ye n’agisuula mu mazzi. Ssengendo bwe yagezezzaako okuyomba, ate olutalo ne luddamu.

Baamukubye nga bwe bamusindika mu Nyanja. Ekifo awali emizigo gya Bob kiriraanye ennyanja ya Kabaka e Ndeeba era awo we waabadde ensiitaano.

Bwe baamusudde mu nnyanja, yagezezaangako okuvaayo wabula waliwo eyamukubye ekiyinja mu mutwe wakati ekyamumazeemu amaanyi ne yebbika mu nnyanja awatali kwerwanako.

Ffenna twatidde nga tulaba Ssengendo tadda ngulu era awo abavubuka abaamusse we baatandikidde okubuna emiwabo n’omugagga waabwe Bob.

Faisal Mutebi omu ku babadde mikwano gya Ssengendo yagambye nti baamuyise nti munnaabwe bamutta ng’obudde bukedde.

Yayise banne ne bakung’aana bagende bamutaase kyokka baagenze okutuukawo nga babalaga kifo we bamusudde nga yabbidde dda tebakyamulaba!

Obudde olwakedde, kwe kulaba omulambo nga gutengejjera ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba.

Mutebi yagambye nti okuva mukwano gwe lwe yakomawo okuva e Dubai, abadde akyakalira ku bbaala ya Plan B e Kabuusu ne banne naddala Eddie Kigere kyokka era nti abadde amanyiganye bulungi ne Bob kubanga baakolako bonna e Dubai era Ssengendo naye abadde yaakatandika okukola omulimu gw’okusuubula sipeeya ng’alabira ku bazadde be era abadde akolera ku kizimbe kya Get Rich mu Ndeeba omuli edduuka lya kitaawe ne nnyina Mariat Nantongo Mabeera.

Abazadde n’abooluganda baasigadde mu maziga, okufiirwa omwana waabwe abadde asituse.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emiliano Kayima yagambye baakutte Bob Kasajja ku misango gy’obutemu era bayigga n’abavubuka abalala be yabadde nabo mu kutta Ssengendo.

Kasajja akuumirwa ku poliisi ya Old Kampala. Abasuubuzi n’abatuuze beemulugunyizza ku by’okwerinda ebibi mu kitundu kya Kayanja Triangle awaabadde obutemu kubanga wabeerawo ebibinja by’abavubuka abanywa enjaga n’ebitamiiza ebirala era bwe buziba ne batandika okukola effujjo.

Ibrahim Nsubuga omu ku batuuze yasabye Mmengo ezimbe bbugwe okwetoloola ennnyanja ya Kabaka bateekeko n’amataala okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka n’omuwendo gw’abantu abazze bafiiramu okukendeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...

Dr. Mugisha ng'annyonnyola ebya kokoolo.

▶️ Abaafa kokoolo w'obusajj...

Okusinziira ku Dr. Noleb Mugisha omukugu mu kujjanjaba kookolo mu ddwaaliro lya kookolo erya Uganda Cancer Institute...

Abagole nga bali ne Katikkiro wa Buganda, Charles Mayiga.

Katikkiro asiimye Wessaali ...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bussa nnyo ekitiibwa mu bufumbo ng'eno y'emu ku...