TOP

Amasomero amacaafu e Kawempe gaakuggalwa

Added 22nd September 2016

Bannannyini masomero essira basinze kulissa ku kuggya ssente ku bazadde mu kifo ky’okulowooza ku buyonjo bw’amasomero ekitadde obulamu bw’abayizi mu katyabaga.

 Kansala Ssemambo ng’alambula essomero lya St James e Bwaise.

Kansala Ssemambo ng’alambula essomero lya St James e Bwaise.

Bya DEO GANYANA

KKANSO y’e Kawempe eyisizza ekiteeso ky’okuggala amasomero amacaafu. Kansala Salim Ssemmambo, akulira ebyenjigiriza mu munisipaali y’e Kawempe ye yakulembeddemu banne okuyisa ekiteeso kino era ne balaga okutya olw’embeera embi amasomero gye galimu naddala mu kiseera ky’enkuba etandise okutonnya.

Ssemmambo era yategeezezza nti munisipaali y’e Kawempe mulimu amasomero 600 kyokka aga Gavumenti galiko 15 gokka.

Bannannyini masomero essira basinze kulissa ku kuggya ssente ku bazadde mu kifo ky’okulowooza ku buyonjo bw’amasomero ekitadde obulamu bw’abayizi mu katyabaga.

Kansala Ssemmambo ng’alaga amazzi aganjadde mu ssomero.

 

BANNANNYINI MASOMERO BOOGEDDE

Peter Basoga nnannyini ssomero lya Spire Junior School e Bwaise, Kawempe yategeezezza ng’ekiteeso kye baleeta bwe kiri ekirungi era nabo nga bannannyini masomero bakyaniriza naye munisipaali y’e Kawempe erina abakozi abayonja batono ate ng’amasomero mangi.

Noolwekyo kigenda kuba kizibu abakozi abo okwegabanya okukola emirimu gino mu butuufu.

Yawadde amagezi nti ssinga wateekebwawo kkampuni z’obwannannyini ezirina obukugu mu kukola emirimu gy’okufuuyira ebiwuka n’okuyonja ng’ekitongole kye kibasasula, kijja kuyamba.

Wabula abazadde basabye abalondoola amasomero amacaafu okukikola mu bwenkanya nga tewali gwe battira ku liiso nti kye kijja okuyamba kampeyini eno okuvaamu omulamwa.

Kansala Ssemmambo yasabye bannannyini masomero amacaafu naddala abamaze okulabulwa bagalongoose ng’abaana tebannaba kuddayo ku masomero.

N’agamba nti kino tekikoleddwa kunyigiriza bannannyini masomero, kulaba ng’abaana basomera mu mbeera ennungi n’okulaba nga tebalumbibwa bulwadde obuva ku bucaafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...