TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi awadde ekiragiro ku Kirumira ku bya Kasiwukira

Omulamuzi awadde ekiragiro ku Kirumira ku bya Kasiwukira

Added 23rd September 2016

Yadde Nabikolo agamba nti yasonyiwa bba olw’okuganza omukyala owookubiri era n’omwami ne yeetonda, obusungu n’obuggya tebyamuggwaako kubanga omusajja yaddamu n’azaala mu mukyala owookubiri olwo Nabikolo n’atandiika okumulondoola okutuusa lwe yamanya nti n’emmere gy’amufumbira, omwami agitwala ewa mugya we n’agiriiirayo ekintu ekyayongera okumunyiiza.

 Nakkungu ( ku kkono) ne Nabikolo nga batuuka ku kkooti.

Nakkungu ( ku kkono) ne Nabikolo nga batuuka ku kkooti.

Bya ALICE NAMUTEBI

OLUDDA oluwaabi mu musango gw’okuttibwa kw’omugagga Kasiwukira luwaddeyo obujulizi obusembayo ne lusaba kkooti esingise nnamwandu Nabikolo omusango gw’okutta bba.

Omuwaabi wa Gavumenti Alice Kyomuhangi yategeezezza omulamuzi Masalu Musene nti Nabikolo bw’aba agamba nti yali mukyala mufumbo asiiba awaka nga talina mulimu gwonna gw’akola gumuwa ssente kyokka ng’abatemu be yasooka okupangiisa bamulumiriza nti yali abasuubizza ssente singa bamuttira bba, kino kitegeeza nti yali aluse bulungi olukwe ng’akimanyi ajja kusobola okufuna ssente za bba ng’afudde.

Yannyonnyodde nti yadde Nabikolo agamba nti yasonyiwa bba olw’okuganza omukyala owookubiri era n’omwami ne yeetonda, obusungu n’obuggya tebyamuggwaako kubanga omusajja yaddamu n’azaala mu mukyala owookubiri olwo Nabikolo n’atandiika okumulondoola okutuusa lwe yamanya nti n’emmere gy’amufumbira, omwami agitwala ewa mugya we n’agiriiirayo ekintu ekyayongera okumunyiiza.

Kyomuhangi okwogera bwati yabadde amatiza omulamuzi nti Nabikolo ye yateeka ssente mu kufa kwa bba ng’amubonerezza olw’okuleeta amayembe mu maka gaabwe agaali gaagala okusadaaka abaana be ssaako n’okumugattako omukyala omulala n’amuzaalamu abaana.

Omulamuzi Masalu yasoose kugaana kuyita mugagga Godfrey Kirumira kubaako by’aba annyonnyola ku nfa ya mugagga munne Kasiwukira oluvannyuma lw’omu ku bavunaanibwa Jaden Ashira okumulumiriza nti yali amuwa enguzi ya bukadde 200 n’okumuzimbira ennyumba singa alumiriza nnamwandu.

Yagambye nti Kirumira si y’avunaanibwa omusango gw’okutta Kasiwukira era tekimwetaagisa kuyitibwa mu kkooti naddala ng’omusango gutuuse ku nkomerero.

Wabula nti ensonga ezisingawo ku kugaana Kirumira, ajja kuziwa ng’asala omusango guno.

Kyomuhangi yakubye ebituli mu nneeyisa ya Nabikolo nga bba yaakafa n’agamba nti omuntu alumiddwa bba afaayo okulaba ng’akolagana ne poliisi n’okugibuuza wa okunoonyereza we kutuuse.

Naye Nabikolo bino teyabifaako kubanga yali amanyi ekyama kye era n’asaba omulamuzi amusingise omusango gw’okutta bba Kasiwukira.

Kyomuhangi yazze ku Sandra Nakkungu n’alaga omulamuzi nti ekikolwa akye okutunda emmotoka ye Pajero UAE 018A egambibwa okukozesebwa okutta Kasiwukira ku lunaku lwennyini lw’attibwa nga October 7, 2014 kiraga nti yalina ky’abikkirira.

Yeebuuzizza nti Nakkungu mu kwewozaako kwe bw’aba agamba nti emmotoka yagitunda nga October 16, 2014 kyokka nga talina buwandiike, Kasiwukira n’attibwa nga October 17, kigendererwa ki eyagula emmotoka Kwitegetsi eyali tamanyi Kasiwukira kye yalina okumutta okuggyako nga Nakkungu ke nnyini ye yatta omugenzi kyokka n’alimba nti emmotoka yali yagitunda dda.

Nnamwandu Nabikolo, Nakkungu n’owapoliisi Jaden Ashiraf bakuumibwa mu kkomera e Luzira olw’okutta omugenzi Kasiwukira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng'alonda e Lweza.

Katikkiro Mayiga annyonnyod...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye baalonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti...

William Musisi addukidde mu kkooti.

Owa NUP e Nakaseke bamukees...

MUNNAKIBIINA kya NUP Wiliam Musisi addukidde mu kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa munnakibiina kya NRM, Koomu Ignatius...

Biden ng’alayira ate mukyala we Jil y’akutte Babiyibuli ewezezza emyaka 127.

Okulayiza Pulezidenti wa Am...

PULEZIDENTI Joe Biden alayidde n'aggyawo amateeka mangi abadde Pulezidenti, Donald Trump ge yateekawo mu myaka...

Engeri Judith gye yatengula...

Lwe baasisinkana mu wooteeri Judith olumu yapangisa ekisenge mu wooteeri emu e Mbarara ku mwaliiro gwe gumu...

Emisanvu abaserikale gye baatadde mu kkubo erigenda ewa Kyagulanyi ali mu katono.

Poliisi erabudde ababaka ba...

POLIISI erabudde ababaka b'ekibiina kya NUP abakoze enteekateeka okutwalira mukama waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu...