TOP

Abafere bamaze emyaka 2 nga bacupula Royco

Added 27th September 2016

Bukedde akizudde nti abafere bassa Royco omufu mu bukebe bw’oyo omutuufu olwo ne kiba kizibu omuguzi okumwawula.

 Omufu abeera n’ennukuta ezinnyikidde bwino

Omufu abeera n’ennukuta ezinnyikidde bwino

Bya CAROL KASUJJA

KUMPI buli nva ezifumbibwa awaka ne mu bifo awatundirwa emmere, zissibwamu ka ‘ROYCO’, olwo ssupu n’azitowa bulungi n’enva ne zifuna akawoowo n’olya emmere n’okuba n’ennoga.

Si nva zokka, wabula n’abookya n’okusiika ennyama ey’omuchomo, ‘Royco’, tabavaako kubanga alina engeri gy’amyuusa ennyama, mwanawattu wenna n’oyiika amalusu!

Eno y’ensonga lwaki , ‘Royco Muchuzi Mix’ ayaayanirwa okufa obufi mu maduuka amanene ag’omu bibuga n’obuduuka obutono obw’oku byalo.

Wabula okunoonyereza okukoleddwa Bukedde Online kulaga nti abantu abamu batandise okumucupula!

Ekituufu ekiri ku Royco atakola bantu kye bamusuubiramu kiikino: ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) bakizudde.

Omwogezi wa UNBS, Barbara Kamusiime, agambye nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti waliwo abafere abeenyigidde mu kucupula Royco Mchuzi Mix nga kati, omu ku Royco atundibwa mu maduuka wa kicupuli.

Kamusiime yagambye nti okunoonyereza kwabwe kuzudde nti kati emyaka gyekulungudde ebiri be ddu ng’abafere bacupula Royco ne bamuguza abantu.

Wabula eky’obulabe ekiri mu kutunda Royco ow’ebicupuli, buli mu bintu abafere bye bakozesa okugingaginga, nga bino ba UNBS bye bazudde nga bya butwa eri obulamu bw’abantu.

Bukedde akizudde nti abafere bassa Royco omufu mu bukebe bw’oyo omutuufu olwo ne kiba kizibu omuguzi okumwawula.

Royco asinga kutundibwa mu bifo omweyunira abantu omuli Ekikuubo mu Kampala, supamaketi ez’amaanyi, mu bibuga nga Jinja, Mbale, Mbarara n’awalala.

Ennamba eziriko nkuutize Bakuutizza ennaku z’omwezi. (laba ku kkono ddala).

 

KKAMPUNI KY’EGAMBA:

Aba kkampuni ya Unilever abatunda Royco mu Uganda bwe twabalaze ku ‘sampolo’ ya Royco ow’ekicupuli gwe twaguze okuva mu Kikuubo, bakkiriza nti ddala wa kicupuli era si ye Royco omutuufu gwe bakolera e Kenya.

Pheodor Njoroge, okuva mu Unilever e Kenya, yagambye nti baakebedde sampolo nga ddala ya kicupuli wabula yagambye nti basuubira nti Royco ow’ebicupuli ali ku katale mutono nnyo n’agumya abantu obuteeraliikirira.

Akulira ekibiina ekirwanirira abaguzi ekya Uganda Consumer Protection Association (UCPA), Sam Watasa, yawadde abaguzi ba Royco amagezi okwekenneenya Royco gwe bagula kubanga omutuufu aliko envumbo n’akabonero ka UNBS sso ng’ow’ekicupuli taliiko nvumbo na kabonero.

Royco owa baketi

 

 KW’OLABIRA ROYCO OW’EKICUPULI:

1 Royco ow’ekicupuli aliko ekifaananyi ky’Akatungulu sso nga Royco omutuufu talina kifaananyi ekyo.

2 Bw’obikkula Royco ow’ekicupuli, obuwunga bwa kyenvu nnyo era akuba ekisu

3 Royco ow’ekicupuli bw’omukozesa mu nva, yeesengejja n’adda wansi era enva tezibeera na ssupu mukwafu.

4 Bwe weekenneenya omukebe gwa Royco ow’ekicupuli, ebimu ku bigambo biwandiikiddwa mu Lungereza olumenyefumenyefu ate obukebe teburiiko nvumbo n’akabonero ka UNBS.

5 Omukebe gwa Royco ow’ekicupuli guwewuka okusinga ku gwa Royco omutuufu kubanga abafere tebagujjuza.

6 Ku Royco omutuufu, ennaku ez’omwezi kw’alina okukozesebwa ziwandiikiddwaako Kompyuta sso nga ow’ebicupuli, ziwandiikiddwaako mu ngeri njingirire mu langi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...