TOP

Owa bodaboda asse omuyizi eyagaanyi okumuddira

Added 28th September 2016

OWA bodaboda alondodde omuyizi wa S.4 n’amufumitira ebiso ku ddwaaliro n’amuttirawo! Mu kanyoolagano, omuvubuka ono afumitiddemu n’owooluganda lw’omuwala eyabadde azze okudduukirira.

 Wabudeya (ku ddyo) ne Catherine Namee gwe yasse. Wano baali gukyabasaza mu kabu.

Wabudeya (ku ddyo) ne Catherine Namee gwe yasse. Wano baali gukyabasaza mu kabu.

Bya VIVIEN NAKITENDE NE JOSEPH WANZUSI

OWA bodaboda alondodde omuyizi wa S.4 n’amufumitira ebiso ku ddwaaliro n’amuttirawo! Mu kanyoolagano, omuvubuka ono afumitiddemu n’owooluganda lw’omuwala eyabadde azze okudduukirira.

Omuvuzi wa bodaboda ono yasooka kuganza muwala ono ng’ali mu P.7 n’amuzaalamu omwana, kyokka bazadde b’omuwala ne basalawo okuzzaayo muwala waabwe mu ssomero nga bwe bawera nti, “kikafuuwe okufumbirwa owa bodaboda”.

Wabula owa bodaboda yasigala akyakukuta n’omuwala nga y’amuvuga okumutwala ku ssomero n’okumukimayo; okukkakkana ng’amufunyisizza olubuto olwokubiri.

Omuwala we yafunira olubuto olwokubiri, yali mu S.2 era owa bodaboda n’asindikira abazadde ababaka ng’abasaba bamuwe omuwala amuwasize ddala.

Agatha Nalukwago (ku kkono) Namwandu wa ddereeva wa takisi, Munanyeza, naye eyattiddwa omulambo ne bagusuula mu nnyanja.

 

Abazadde baakomba kw’erima ne balabirira muwala waabwe n’amala okuzaala era omwaka oguwedde ne bamuzzaayo mu ssomero era abadde mu S.4 ng’ali mu keetereekerero ka kukola bibuuzo bya kamalirizo (UNEB).

Omuwala Catherine Namee 21, bwe yamala okuzaala omwana owookubiri, bazadde be baafuba okumubuulirira okwesonyiwa omuvuzi wa bodaboda Wanambwa Wabudeya 35, era ebigambo by’abazadde ne binnyikira mu bwongo bw’omuwala n’atandika okubadala Wabudeya nga ne bw’amukubira essimu, omuwala atunulako ntunule – takyazikwata.

Abazadde baasalawo okutwala omuyizi mu kisulo, ekyayongera okukaluubiriza Wabudeya kubanga yalina akakodyo kamu – ka kuteega muwala ono ng’agenda ku ssomero n’okumuggyayo, olwo n’amuvugako ku boda…

Wabudeya amaze ekiseera nga yeekuba ku muwala okutuusa lwe yakizudde nti ebirowoozo by’akyuka, era omuvubuka ono kwe kutandika okuteebereza nti omuwala yandiba nga yafunayo omusajja omulala ‘omuyivu’ nga y’amweyinuza.

Oluwummula luno lwonna, Wabudeya alumazeeko ng’aliimisa Catherine abadde asomera mu Masaba High School Nauyo - Mbale, era bwe yakitegedde nti agenze ku ddwaaliro kulabirira omu ku booluganda omulwadde, olwo kwe kukola olulumba.

Yagenze n’ekiso era bwe yatuuse ku ddwaaliro eddene erya disitulikiti y’e Bududa, kwe kuyita omuwala ebweru boogeremu.

Omuwala teyabadde mu bi n’afuluma ne badda ebbali era baayogeredde kumpi essaawa nnamba kyokka amaloboozi ne gatandika okuwanvuwa.

Eby’embi, amasannyalaze gaabadde gavuddeko ate ng’obudde bukunukkiriza ssaawa 4:00 ez’ekiro era Wabudeya yakozesezza omukisa ogwo okufumita omuwala ebiso bibiri mu lubuto n’ekirala mu kifuba ku ludda awali omutima era ekyo ky’ekyamumalirizza.

Omuwala yalaajanye era mwannyina Deo Namukowe eyabadde mu ddwaaliro n’ajja misinde okudduukirira kubanga yabadde yalabye dda ababiri bano nga bali mu kafubo. Owa bodaboda yamwesoose n’amufumita ekiso ku mukono n’agwa ku ttaka era abantu abalala abaabadde bazze okudduukirira bwe baalabye ekituuse ku Namukowe, bonna ne babuna emiwabo.

Namukowe ng’ali mu nnaku y’okutemulwa kwa mutoowe yategeezezza nti Wabudeya bwe yalabye ng’abantu babunye emiwabo, kwe kubomba kyokka pikipiki, essimu ne jaketi ye n’abireka ku ddwaaliro era poliisi yabikutte ng’ebizibiti.

Wabudeya y’abadde ssentebe wa siteegi ya bodaboda ey’e Buloli mu Bududa Town Council, era weesudde akabanga katono ne Bukimuma – bazadde b’omuwala gye babeera.

Aduumira poliisi mu ttundutundu ly’e Mbale (RPD – Elgon) Francis Chemusto yagambye nti bateebereza nti Wabudeya yaddukidde Kenya kyokka bakwataganye ne poliisi y’ensi yonna (Interpol) okumuyigga akwatibwe avunaanibwe emisango ebiri; obutemu n’okutuusa ebisago ku Namukowe.

Ab’eddwaaliro nabo bayitiddwa okunnyonnyola engeri omuwala gye yattiddwa ku ddwaaliro n’abulawo nga takwatiddwa ate nga liteekeddwa okubeera n’omukuumi.

 

Owa takisi bamuttidde mu bulumi Deo Munanyezi 40, omutuuze mu Kisenyi mu Kampala yasoose kutulugunyizibwa okutuusa lwe yafudde, oluvannyuma omulambo ne bagusuula mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba mwe gwasangiddwa eggulo nga gutengejjera ku nguli.

Omulambo gwa Munanyezi gwannyuluddwa poliisi ya Kampalamukadde ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Abasawo baaguzuddeko ebiwundu ebiraga nti yasoose kutulugunyizibwa n’afiira mu bulumi era okumusuula mu mazzi, yabadde yafudde dda.

Omugenzi abadde muvuzi wa takisi mu ppaaka y’okuluguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kampala era baddereeva banne bategeezezza nti abadde yaakatunda takisi ye UAJ 226H ayingire eby’okusuubula emmere.

Nnamwandu Agatha Nalukwago wakati mu kwaziirana yagambye nti bba abadde mulema okugulu okumu nga tatambula kiro era bwe yalabye obudde buzibye nga tannadda, omutima ne gutandika okumwewuuba era bwe yakubye ku masimu ge nga tegaliiko n’ayongera okutya.

Mikwano gy’omugenzi gyategeezezza nti waliwo omusajja amanyiddwa nga Meddie eyafeze Munanyeza n’amuyingiza Munanyezi ddiiru ey’empewo era ayinza okuba ng’amanyi ku by’enfa.

Baagambye nti Meddie y’eyasendasenda Munanyeza okutunda emmotoka obukadde obusukka mu 20 n’amuyingize ddiiru y’okutwala obummonde e Juba kyokka bwe baabusuubudde bwonna, Meddie n’abulawo nabwo era abadde yamuwendulira dda abaserikale bamukwate.

Abamu baabadde balowooza nti omugenzi alabika yeekyaye ne yeesuula mu nnyanja, kyokka obubonero bwe ku mulambo bwabalese banyeenya mitwe. Munanyezi alese nnamwandu n’abaana abato abakyasoma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

Abayizi ba S4 batandise lee...

OLWALEERO abayizi ba S4 lwe batandika okukola ebibuuzo by'akamalirizo bye bagenda okutuula okutuusa nga April 6,...

Abaagala okugaggawala mukol...

OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere awadde amagezi abaagala okugaggawala beewale okwesaasira,...

Omusumba Ndalike

Omusumba avumiridde abeeraguza

OMUSUMBA Stephen Ndalike atwala ettwale ly'e Luzira mu Kkanisa y'Abadiventi avumiridde omuze gw'okweraguza ogweyongedde...

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...