
Eddwaaliro lya Family Care Hospital e Buwaate erimu ku ago agatagenda kuweebwa ssente.
MINISITULE y’ebyobulamu eggye enta mu kuwaayo ssente eri eddwaaliro ly’obwannannyini erya Family Care Hospital erisangibwa e Buwaate mu munisipaali y’e Kira nga zino ze zimu ku bukadde 500 ezirina okukola mu malwaliro ga Gavumenti mu Wakiso.
Bino biri mu bbaluwa ya Minisita w’Ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng eri ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika ng’amutegeeza nga bwe bayimirizza okuwa ensimbi z’enteekateeka ya PHC eri amalwaliro g’obwannannyini gonna mu Uganda.
Dr. Aceng yayongeddeko nga bwe bamaze okutegeeza ne Minisitule y’Ebyensimbi okuyimiriza ekyokuwaayo ensimbi obukadde 500 eri eddwaaliro lya Family Care Hospital e Buwaate.
Bwanika yasoose kuwandiikira Minisita Aceng nga July 05, 2016, nga yeemulugunya nti talaba nsonga lwaki Gavumenti eremwa okuwa amalwaliro gaayo agali mu Wakiso eddagala n’ensimbi ezigamala ate n’edda mu kuziwa eddwaaliro ly’obwannannyi eriggya ne ssente ku bantu okubajjanjaba.
Bwanika yategeezezza Bukedde nti yagwa mu lukwe lw’abanene mu Gavumenti okunyaga ensimbi nga bayita mu disitulikiti y’e Wakiso.