
Kembabazi n’omwana we.
OMWANA eyabbibwa emyezi esatu egiyise azuuliddwa nga mulamu. Baamuggye Rukungiri eyamubba gy’abadde amukukumye .
Joan Kembabazi 26, omutuuze w’e Lubaga yategeezezza poliisi nti omwana we Junior Byaruhanga, baamubba mu June ng’alina emyezi munaana ng’eyamubba baali bamuyita Panera.
Yagambye nti baamutemyako nti eyamubbako omwana yali amutwalidde omusajja ayitibwa Abel Nuwamanya e Rukungiri n’atandika okumunoonya.
Yagambye nti okuzuula omwana, poliisi yalondodde mukwano gwa Nuwamanya ayitibwa John Bosco Akankwasa ng’ono ye yabawadde amawulire agakwata ku mwana ono.
Akankwasa bwe yalabye nga poliisi emunywezezza n’agitegeeza ng’omwana bwe baamutwala e Rukungiri mu ggombolola y’e Nnyalukyanyi ng’eno poliisi omwana gye yamuggye.
Omwana yasangiddwa ng’awezzza omwaka mulamba kyokka ng’enviiri zisiiwuuse era ng’alabika ali mu kutya era yabadde ne nnyina takyamumanyi ng’obwedda bw’amukwatako akaaba!
Mbega wa poliisi e Katwe abadde anoonyereza ku kusango guno, Richard Ngamuha yategeezezza nti omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro ly’e Nsambya okwekebejjebwa.
N’agamba nti abaabadde n’omwana poliisi yabakutte nga bwe noonyerezza lwaki babba omwana ono ne bamukweka.