TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Donald Trump alaajanye: 'Waliwo olukwe lw'okunziba obululu'

Donald Trump alaajanye: 'Waliwo olukwe lw'okunziba obululu'

Added 3rd October 2016

Trump alumirizza nti waliwo olukwe lw’okubba obululu bwe mu masaza agamu, n’akunga abawagizi be okuba obulindaala okulwanyisa ekibbabululu.

 Trump ne Clinton (ku ddyo).

Trump ne Clinton (ku ddyo).

DETROIT, MICHIGAN DONALD

Trump alumirizza nti waliwo olukwe lw’okubba obululu bwe mu masaza agamu, n’akunga abawagizi be okuba obulindaala okulwanyisa ekibbabululu.

Yasinzidde Detroit mu ssaza ly’e Michigan n’alumiriza nti olukwe lugendereddwaamu kuyamba Hillary Clinton okutuuka mu White House.

Yagambye nti akitegeddeko nti waliwo enteekateeka ezikoleddwa mu masaza agamu okuli Pennsylvania, Chicago, n’awalala okubba obululu mu ngeri y’emu nga munnakibiina kya Republican Mitt Romney bwe yabbibwa obululu mu 2012, ne buweebwa Barack Obama.

Mu 2012 kigambibwa nti ebifo ebironderwamu 96, omuli abalonzi abaddugavu abangi, Romney teyafunawo wadde akalulu akamu, obululu bwonna 1,687 bwatwalibwa Obama.

Trump yagambye nti okufaananako nga bannamawulire bwe baakyusizzakyusizza ebyavudde mu ‘dibeeti’ ye ne Clinton, ne ku lunaku lw’okulonda nga November 8, 2016, waliwo olukwe olw’okubba obuwanguzi bwe.

“Dibeeti mwagirabye, engeri Clinton gye baamuyisizzaawo nti agiwangudde, sso ng’ensonga zaamulemye okulambika. Ne ku lwa November 8, ebintu bigenda kucangibwa”, Trump bwe yalumirizza.

Trump era yalumbye Clinton, nti tayinza kusobola Bwapulezidenti olw’engeri gy’akotyonka, olw’obulwadde bw’omu mawuggwe bw’alina.

“ Si bulwadde bwokka wabula Clinton ng’omuntu munafu, ate si mwesimbu, asaana nakuggalirwa mu kkomera” Trump bwe yagambye, olwo abawagizi be ne basaakaanyiza waggulu nti, aggalirwe”.

Trump yayongedde okulumba Clinton nti obufumbo bwe ne bba Bill Clinton buli yegeyege, Clinton si mwesimbu eri bba ate ne bba naye si mwesimbu.

TRUMP BUBBI WA MUSOLO

Ab’enkambi ya Hillary Clinton nabo bongedde okuyeeya Trump nti mubbi wa misolo, era amaze emyaka 20 nga tasasula.

Olupapula lwa New York Times lwafulumizza Lipoota eraga nti mu 1995, Trump yapangapanga empapula eziraga nti yafi irizibwa doola obukadde 916, aboomusolo ne bamukkiriza okumala emyaka 18 nga tasasula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...