
Ebimu ku bizimbe enkuba bye yatikuddeko amabaati
Bya Florence Tumupende
NNAMUTIKKWA w’enkuba akedde okutonnya ng'alimu omuzira n'omuyaga omuyitirivu alese abatuuze bakaaba oluvannyuma lw'okuboononera ebintu wamu n'okutikkulako obusolya bw'ennyumba.
Abatuuze abasoba mu 500 ku byalo bitaano okuli Kijwala A ne B,Mijjuma,Kabingo ne Kaapa ebisangibwa mu ggombolola y’e Ndagwe mu disitulikiti ey’e Lwengo,amayumba gaabwe kibuyaga yagatikkuddeko obusolya wamu n'emiti egibaliraanye gyonna gisagadde ku ttaka.
Byo ebintu okuli ttiivvi,emifaliso n’ebitabo by’abayizi enkuba yabyonoonye era abaana bangi boolekedde obutasoma olw’ebikozesebwa byabwe byonna okusaanawo.
Eggombololola eno esingamu balimi nabalunzi ng’ebirime byabwe okuli ebitooke,obummonde obuzungu,lumonde,obulo,muwogo nga kwotadde ebisolo okuli ente embuzi ,embizzi n’enkoko enkuba yabisse olw’ebiyumba mwe zibadde zisula okubigwiira.
Abamu ku bannannyini mayumba,ebirime,n’ensolo ezisanyeewo enkuba kuliko,Hajji Abduh Lukyamuzi,Adamu Lubowa Adamu Mayanja nga kwotadde ennyumba zabannamwandu ne bamulekwa ezitaalutonze.
Abatuuze bagamba nti babadde baakava mu kukosebwa musisi gwe bagambye nti osanga ye yakankanya amayumba gaabwe ne gasigala ku kalebwerebwe nga kibuyaga oluzze kubadde kumenya mu jjenje kkalu.
Bakukkulumidde sentebe Mutabaazi eyabasimbisa emiti ku kibooko gye bagambye nti tegiriimu kalungi kuba nagyo embuyaga ejisudde obutasigalawo nga kwotadde ogwiira amayumba gaabwe.