TOP

Ababbi beefuze enguudo z'omu Ntinda

Added 5th October 2016

Ababbi beefuze enguudo z’omu Ntinda

 Ekkoona lya Church Road we bateegera abantu ekiro.

Ekkoona lya Church Road we bateegera abantu ekiro.

ABATUUZE b’e Ntinda basattira olw’ababbi ababasuza nga tebeebase. Okusinziira ku Swaid Taman atwala poliisi y’e Ntinda, yagambye nti emisango 40 gye giroopeddwa mu bbanga lya myezi ebiri. Waliwo ekibinja ky’abavubuka ababbi mu kitundu kyaffe abeeyita ba ‘Kikumikikumi’. Bano be basinze okuteeka ekitundu ku bunkenke.

Ekibinja kino kirimu abavubuka abali wakati w’emyaka 12 ne 19 nga baana ba mu kitundu be basinga okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. Kw’abo kwegattako ekibinja ky’abavuzi ba bodaboda ababba abasaabaze ekiro, nga n’abamu beefuula abavuzi ba sipensulo”. Musa Lukyamuzi, ssentebe wa Mutoola Zooni yagambye nti obubbi mu kitundu bweyongera buli olukya ng’abantu abasinga kubwenyigiramu baana bo mu kitundu.

Lukyamuzi yagambye nti mu Zooni 12 eziri e Ntinda, buli luguudo abavubuka bano balina akafo ke baasalako mwe basinziira okunyaga abantu. Amakubo okuli eridda e Kisaasi ne Kiwaatule Ring Road, Kalinaabiri Road, Church Ring Road n’oluguudo lwa Kayondo Road ze zisinga okubaako abavubuka abanyaga abakyala abakeera mu katale e Nakawa okusuubula.

Edward Ssekabanja ssentebe wa Kalinaabiri Zooni, yagambye nti ne mutabani we ali mu kunyiga biwundu yagudde mu kibinja ky’abavubuka abaamukubye katono bamutte ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro nga mu kiseera kino ali ku kitanda. Yagambye nti abavubuka bano baakuba n’akulira poliisi y’e Ntinda n’amala ekiro nga baamukubira ku Kalinaabiri Road.

Muhammad Ssonko yali atambula mu kitundu bye Kiwaatule n’agwa mu babbi ne bamukuba n’oku mubba obutamulekera kantu. Richard Ssenkaaba ssentebe wa Kigoowa Zooni 1, yagambye nti baagezaako okukwata abavubuka bano kuba babamanyi ne babatwala ku poliisi kyokka poliisi n’ebata ne baddamu okutigomya abantu.

Yagambye nti poliisi tebayambye kulwanyisa bamenyi b’amateeka. Swaid Taban, akulira poliisi y’e Ntinda yategeezezza nti bakola kyonna ekisoboka okukwata abavubuka bano kyokka bwe babatwala mu kkooti babeera tebalina bujulizi bubaluma ne babayimbula.

EKISIBYE OBUBBI E NTINDA Abavubuka abagambibwa okwenyigira mu bubbi, poliisi bw’ebakwata ng’ebayimbula abatuuze kye bagamba nti kiggyamu poliisi obwesige. Bagamba nti kino kibatiisa kuba be bayimbula babakolako effujjo nga kwe batadde n’okwewaana nga bwe watali asobola kubakuba ku mukkono.

Abatuuze bagamba nti bazadde baabwe babatiisa okubakolako obulabe nga balumiriza nti abaana baabwe babawaayiriza ne bababuza emirembe. Enzikiza n’ebikomera ebinene byongedde obumenyi bw’amateeka ng’ababbi bateega abatambula ne babanyaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....