TOP

Kkampuni y'Abachina egobye abakozi 700

Added 6th October 2016

KKAMPUNI y’Abachina ekola enguudo mu Kampala egobye abakozi 700. Beekalakaasizza nga beemulugunya olw’okubasindikiriza nga tebabasasudde musaala gwabwe.

 Meeya Serunjogi ng’ayogera n’abakozi.

Meeya Serunjogi ng’ayogera n’abakozi.

KKAMPUNI y’Abachina ekola enguudo mu Kampala egobye abakozi 700. Beekalakaasizza nga beemulugunya olw’okubasindikiriza nga tebabasasudde musaala gwabwe.

Abakozi omuli abawereza, baddereeva, abasima emyala n’okuzimba baakedde ku mulimu ku kkampuni ya China Railway Seventh Group e Kyebando ku luguudo lw’e Gayaza nga tebamannyi nti bagobeddwa kyokka amannya gaabwe baagasanze ku geeti nga balaga nti bagobeddwa.

Kino kyatabudde abakozi ensonga ne bazitwala ewa Meeya wa Kawempe, Emmanuel Serunjogi ne kansala Muhammad Segirinya abaabakakanyiza ne balagira aba China obutabasindikiriza wabula bakkaanye babasasule emyezi ena mu maaso .

“Tumanyi bulungi amateeka ga bakozi era twakola kontulakita ya mwaka kyokka kyatutabudde okutwefuulira ne batugobaganya nga tennaba ku ggwako era nga tebatusasudde” omu ku bakozi Dan Mukalazi bwe yagambye .

Yayongeddeko nti baludde nga banyigirizibwa enkola ya Bachina bano nga gyebuvuddeko twekalakaasa lwa nkola yabwe nga batukuba kyokka abakulembeze bwe babiyingira ne batuleka ku mirimu.

Farouk Mulumba yagambye nti kkampuni ejjudde abali b’enguuzi okutandikira ku mukuumi okutuuka ku avunaanyizibwa ku kugaba emirimu nga babadde babasaba 50,000/- okutuuka ku 100,000/- okukuwa omulimu.

Mulumba yagambye nti Abachina balwanira abakozi abawala n’abavubuka be bakozesa. Bwe bakutegeera nti oliko omukazi gw’okwana nga bakugoba ku mulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...