TOP

Janet Museveni asiimye abasomesa ba pulayimale

Added 8th October 2016

Janet Museveni asiimye abasomesa ba pulayimale

 et Museveni (wakati), n’abasomesa abaasukkulumye ku bannaabwe mu nkola y’emirimu gyabwe.

et Museveni (wakati), n’abasomesa abaasukkulumye ku bannaabwe mu nkola y’emirimu gyabwe.

MINISITA w’Ebyenjigiriza, Janet Museveni yeebazizza kkampuni ya Vision Group olw’okusiima abasomesa n’asaba abasomesa abalala okuyigira ku bannaabwe abawanguzi.

Yabadde ku kitebe kya Vision Group ku mukolo abasomesa ba pulayimale munaana kwe baaweereddwa ebirabo ebibasiima olw’okusukkuluma ku bannaabwe mu buweereza.

Yategeezezza nti abawanguzi balaze ekyokulabirako olw’engeri gye bayambye abayizi okufuna ebyokulya, okutumbula ebitone byabwe, n’okubaagazisa okuba mu masomero.

Yagambye nti ssinga buli musomesa yeeyisa nga bano eggwanga lya kweyagaza nnyo. “Bw’osoma amawulire olaba abantu nga boogera ku kusoomoozebwa okuli mu masomero ga Bonnabasome.

Kinsanyusizza okulaba nga basiimye abasomesa baffe abakolera mu kusoomooza,” Janet Museveni bwe yagambye.

Wakati mu kusoomoozebwa, Janet Museveni yasabye abantu okusiima ebirungi enkola ya, Bonnabasome wa pulayimale byereese naddala omuwendo gw’abayizi okweyongera.

Enkola eno we yajjira mu 1996 abaana obukadde busatu n’emitwalo 10 be baali mu pulayimale, oluvannyuma lw’omwaka gumu gwokka abayizi obukadde butaano n’emitwalo 30 be beewandiisa.

Mu kiseera kino abaana abawera obukadde munaana n’emitwalo 20 be bali mu masomero gano. Kkampuni ya New Vision ng’eyita mu mpaka ze yatuuma “Teachers Make a Difference”, yasiima abasomesa ba Pulayimale abali mu masomero ga Bonnabasome munaana.

Baaweereddwa ebirabo omwabadde satifikeeti ne kavvu. Abawanguzi kuliko, Daniel Waninsa omusomesa mu Nagongera Girls Primary School e Tororo, Basan Mohamed Khan, omusomesa mu Butumba Muslim Primary School e Bugiri, Wilson Bukaayi omukulu w’essomero lya Kamuli Girls Primary School, Deborah Alibu, omukulu w’essomero lya Namalu Mixed Primary School e Nakapiripiriti, Anna Twongeirwe, musomesa mu Nyakibale Lower Primary School, Eric Masereka omukulu w’essomero lya Railway Primaey School e Kasese, Musa Kisibo musomesa mu Morukatipe Primary School mu disitulikiti y’e Tororo ne Sarah Susan Wamala Serunkuuma omukulu w’essomero lya Mukono Boarding Primary School.

Robert Kabushenga, akulira Vision Group yagambye nti kkampuni yasalawo okusiima abasomesa kuba yakizuula nga ly’ekkubo eryangu ery’okukyusa obulamu bw’abantu. Yasuubizza okwongera okuwagira enkola eno.

Nga kkampuni ya Bannayuganda yagambye nti kibakakatako okuyamba awaba obwetaavu. Abasomesa abaawangudde abaakiikiriddwa Susan Wamala Serunkuuma, baasiimye Vision Group ne bategeeza nti kino babadde tebakisuubira mu bulamu bwabwe.

Omubaka wa Ireland mu Uganda, Donal Cronin yeetabye ku mukolo gw’okusiima abasomesa era n’asuubiza okukwatiza awamu ne kkampuni ya Vision Group nga basiima abakozi. Yalaze obwesige mu Janet Museveni n’ategeeza nti ku kye yalabako e Karamoja amanyi ajja kukyusa ebyenjigiriza.

Omukuhhaanya ow’okuntikko owa Vision Group, Barbra Kaija yategeezezza nti kkampuni ezze eteekawo enkola mwesiimira abantu abasukkulumye ku balala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...