
Omubaka Judith Babirye ng’akwasa Semusu ekirabo.
SSENTEBE wa disitulikiti y’e Buikwe agumizza abasomesa mu disitulikiti eno abamaze ekiseera nga tebafuna musaala nti mu bbanga eritali ly’ewala ensonga yaabwe yaakukolebwako. Abasomesa bano era baweereddwa amagezi okutandikawo SACCO eyaabwe ne bategeezebwa nti gye beegattiramu eri e Mukono tebayamba olw’obutaba mu disitulikiti yaabwe.
Bino byabadde mu bubaka obwavudde mu bakulembeze baabwe e Buikwe mu kukuza olunaku lw’abasomesa ku mukolo ogwabadde mu kisaawe kya Mehta e Lugazi. Ssentebe Mathias Kigongo yakkirizza eky’abasomesa obutasasulwa okumala ebbanga n’agamba nti kyava ku nkyukakyuka mu Gavumenti ez’ebitundu ku kutondebwawo kwa Munisipaali ya Lugazi n’eya Njeru n’awakanya ebyogerwa nti ensimbi zigabirwako abantu abamu.
Yagasseeko nti bo babeera na biwandiiko nti ensimbi zaabwe ziteekebwa butereevu ku akawunti zaabwe.
Judith Babirye omubaka omukazi owa Buikwe nga ye yabadde omugenyi omukulu yasabye abasomesa bano nti bwe bakizuula nti SACCO eya Kayunga – Mukono Teacher’s SACCO tebayamba, batandikewo eyaabwe abakulembeze mwe banaayita okuboogerera nga bamanyi nti boogerera bantu baabwe be bakiikirira.
Akulira SACCO eno yategeezezza nti balina obuzibu olwa Gavumenti okukyusa ensasula y’omusaala nga kati abasomesa bazifuna butereevu ku akawunti zaabwe nga bangi bamaze emyezi nga tebabateerayo. Babirye yakwasizza abakulembeze ba UNATU mu Buikwe amabaluwa agabasiima okwabadde, Billy Semusu agenda okuvuganya ku bwassentebe bw’ekibiina kya UNATU omwezi ogujja