
Sseremba (ku ddyo) ne banne nga bawaayo ebirabo
Bya ROGERS KIBIRIGE
SSENTEBE w’eggombolola ya Mumyuka Wakiso Felix Ssemuju Mwanje asambye Gavumenti etandike okugulira abayizi b’amasomero abawala paadi.
Ssemuju yategeezezza nti abawala basanga akaseera akazibu nga beekoonye akagere olw’abazadde baabwe abatalina busobozi kubagulira paadi era abamu boosa ekikosa ensoma yaabwe.
Era ayagala Gavumenti eteekewo ensimbi mu bajeti okusobola okugulira abayizi abawala paadi. Yabadde akulembeddemu ab'ekibiina kya Rubaga Rotary Club nga bakwasa abayizi b’essomero lya UPE erya St. Ludigo Gimbo Primary School mu Wakiso ebitabo, ekkalaamu, ennoni ne paadi.
Ye Pulezidenti wa Rubaga Rotary Club, Owen Sseremba yeeyamye okwongera okudduukirira essomero lino okusobozesa abayizi okusomera mu mbeera eyeeyagaza basobole okuvuganya obulungi n’abayizi abalala.
Ssentebe w’akakiiko ka PTA ku ssomero lino Rogers Sseruwagi yennyamidde olw’abazadde abatagulira baana kyamisana.