TOP

Abadde atta aba sipensulo bamwogezza bw'akikola

Added 9th October 2016

Nannozi yategeezezza naye tamanyi buvumu gy’abuggya ng’ali ku ‘minsoni’ nti kyokka okuttisa emiguwa kumwanguyira kubanga kuba kwa kasirise okutaliimu masasi gayinza kulabula baserikale.

Charles Lutaaya bba wa Nannozi yakwatiddwa ate ye Nannozi yakkirizza okutuga aba sipensulo.

Charles Lutaaya bba wa Nannozi yakwatiddwa ate ye Nannozi yakkirizza okutuga aba sipensulo.

Bya SHAMIM NABUNYA

POLIISI ekutte omukazi gw’erudde ng’enoonya abadde apangisa abavuzi ba sipensulo n’abatuga n’abatta n'abba emmotoka. Bamwogezezza nga yakatta bana baggya ku siteegi ez’enjawulo mu Kampala.

Aidah Nannozi naye akyusakyusa amannya baamukutte ne bba Charles Lutaaya nga poliisi yabazingirizza mu kazigo e Kinnawattaka gye babadde beekukumye oluvannyuma lwa poliisi okutwala ekiseera ng’ebalinnya akagere.

Abavuzi ba sipensulo abana Nannozi be yakkirizza nti abadde mu lukwe lw’okubatta kuliko; Charles Matovu abadde owa siteegi y’e Bugoloobi gwe basse gye buvuddeko omulambo ne bagusuula ku lw’e Mityana ye yamukwasizza.

Nannozi poliisi yamwogezza engeri gye yaluse olukwe okutta Matovu n’ategeeza nti yagenze ku siteegi e Bugoloobi Matovu w’abadde asimba.

Nannozi kw'olwo yayambadde ‘Sharia’ ng’alina akaveera mwe yabadde aterese omuguwa.

Yapangisizza Matovu n’amutegeeza nti amutwala Mityana wabula nga balina be bagenda nabo nga baakubasanga Busega.

Olwatuuse e Busega ne babassaamu ne beeyongerayo, olwatuuse mu lugendo wakati Nannozi n’amwambika omuguwa. Matovu mu kwerwanako emmotoka yazunze mu luguudo n’atomera.

Matovu baamusse ne bamusuula wabweru wabula naye emmotoka yabadde emaze okutomera nga tebakyasobola kweyongerayo nayo kwe kugibuukamu ne badduka.

Engeri poliisi gye yamuzudde

Poliisi yasiseewo mmotoka okugitwala e Mityana muno mwe yasanze essimu y’omugenzi n’enoonyereza ku baabadde basembyeyo okumukubirako n’erondoola Nannozi ne banne abaabadde bakubye ku ssimu eno n’ebakwata.

Nannozi mukazi munene muggumivu, atunuza bumalirivu ayambala ebiteeteeyi kyokka yategeezezza nti bw’abeera agenda ku ‘minsoni’ ayambala bya kisiraamu abamulaba ne bayaayaanira 'Hajati' alabika ssente era bakkiriza mangu okuteeseganya naye.

Nannozi yategeezezza naye tamanyi buvumu gy’abuggya ng’ali ku ‘minsoni’ nti kyokka okuttisa emiguwa kumwanguyira kubanga kuba kwa kasirise okutaliimu masasi gayinza kulabula baserikale.

Ab'enganda z’abavuzi ba sipensulo abazze battibwa baagenze ku poliisi e Katwe okuwa obujulizi ku nfa y’abantu baabwe n’okwongera okuwa poliisi obujulizi obunaagiyamba okulumiriza Nannozi mu kkooti avunaanibwe ogw’obutemu.


Abalala be yayogedde be yaakatta kuliko;
 

Hajji Noorudin Nsubuga ow’e Nateete baamupangisa ne bamuttira e Mubende, Sebaggala eyali akolera e Busega ne Eric Ruzindana eyali owa siteegi ya Volcano okuliraana siteegi ya bbaasi za Jaguar mu Kampala. Nannozi baamugguddeko omusango gw’obutemu ku fayiro SD: 72/13/09/2016.

NAMWANDU WA MATOVU AYOGEDDE:

Judith Tushabe namwandu wa Matovu ab’e Namasuba Pala Zooni yagambye nti, bba abadde tasussa ssaawa 4:00 nga tannaba kukomawo waka wabula kw’olwo yalaba obudde bugenze kwe kumukubira essimu n’evuga nga tagikwata.

"Nalinda okutuusa enkeera nagenda okuddamu okugikuba eyagikwata n'anneeyanjulira nti, muserikale n’antegeeza nti nnannyini ssimu baamusse.

Yantegeeza nti omulambo guli mu ggwanika e Mityana nagenda okutuukayo ng’omulambo gulimu omuguwa mu bulago. Twamuziise Ntungamo", bwe yagambye.

 

SSENTEBE WA SIPENSULO AYOGEDDE:

Ssaalongo Erias Musoke, ssentebe w’ekibiina kya Kampala District Special Hire Operators and Drivers Association (KADSHOGA) omwegattira abavuzi ba sipensulo yagambye nti abantu bajja nga bakasitoma ne babasuubiza okubasasula ssente ennyingi ezisikiriza naye nga baagala kubatta.

Agamba nti babapangisa ku ng'endo empanvu ng’okuva e Kampala okudda e Mbarara bwe batuuka mu kkubo ne babeefuulira.

"Bakuggyako ebikwogerako byonna ne babitwala olumu ne kiremesa poliisi okumanya omuntu n’abulwako abamulondoola.

Olumu obuzibu bwe tusanga, munnaffe bw’asimattuka ate poliisi gw’esooka okukwata ng’egamba nti yeekobaanye n’ababbi ne babuzaawo emmotoka.

Omu ku bagudde mu kitimba kino kuliko Richard Matovu kati ali Luzira", bwe yagambye.

Abattiddwa:

1 Norodeen Kawuma yali akolera ku siteegi y’e Wandegeya bamuttira Nakigalala.

2 Farouk Nyonyintono yali akolera ku siteegi ye Bwaise baamuttira Kansanga.

3 Nyanzi yali akolera ku siteegi y'e Masaka baamuttira Gayaza omulambo gwe ne bagusuula mu nnyannja.

4 Musoke yali akolera ku Corporative siteegi baamuttira Masaka.

5 Siraje Kaweesa yali akolera ku siteegi y'e Bwaise baamuttira Wattuba - Matuga era nga yali avuga mmotoka nnamba UAG 934X.

6 Mansoor Mutagubya yali akolera ku siteegi y’e Namasuba baamuttira Lweza.

7 Elly Ssebuufu yali akolera ku Alkright siteegi baamuttira Kitende mu Junuary 25,2016.

8 Erias Kafeero yali akolera ku siteegi y’e Seeta baamutta ne bamubbako emmotoka Raum UAQ 194Y.

9 Lawrence Kaweesa yali akolera Wandegeya baamutta, mmotoka UAP 127G ne bagitwala.

10 Saadi Kiggundu yali akolera ku Corporative Bank baamutta ne bamutwalako emmotoka UAV 294A.

11 Charles Muluya yali akolera ku siteegi y'e Bwaise baamutta.

12 Raymond Nkata baamuttira Ndejje.

13 Meddie Bukenya yali akolera ku Petro City e Makindye baamuttira Salaama Kyamula mmotoka UAS 804C ne bagitwala.

14 William Wamala yali akolera Kibuye baamuttira Salaama.

15 Brian Lusoba yali akolera Kamwokya baamuttira Kololo emisana ne bamutwalako emmotoka nnamba UAQ 644U.

16 Augustine Kiganda yali akolera ku Namirembe road baamuttira Nsangi ne bamutwalako mmotoka UAK 254K.

17 Jude Lubega baamuttira Ssisa.

18 Peter Badokwaya yali wa siteegi y’e Mengo ku ddwaaliro bamuttira Ssentema ne baamutwala emmotoka nnamba UAP 061.

19 Mukasa yali akolera ku siteegi y’e Lubaga ku ddwaaliro baamuttira Lusaze.

20 Costantine Ssempala yali akolera Wandegeya baamuttira Kajjansi.

21 Musa Mukasa yali akolera ku Magoba Arcade bamutiira Kalungu -Masaka.

22 Azalia Kafuluma yali akolera Kajjansi baamuttira Buwama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...