TOP

Akabbinkano ka Trump ne Clinton II

Added 9th October 2016

Amaaso n’ebigambo byolekeze abantu bali mu maka gaabwe ku ttivvi Clinton muveeko.” Farage bweyagambye Trump.

 Farage (ku kkono) ne Trump.

Farage (ku kkono) ne Trump.

ABAMERIKA n’abantu abalala okwetoloola ensi nga balindiridde akabbinkano ak’omulundi ogwokubiri wakati wa Trump ne Clinton leero ekiro.

Trump agamba nti ku luno Clinton agenda kumwasimula bugolo.

Trump agamba nti, mu dibeeti eno eyookubiri egenda okubeera e Washington mu yunivasite ya St. Louis, obutafaananako eyasooka eyali mu New York mu yunivasite y’e Hofstra Hempstead, azze mwetegefu obutaddamu kuwugulwa okuva ku mulamwa ng’asaabulula obulimba Clinton by’anaaba amussaako asigale ku nsonga ezinaaba zibuuzibwa bannamawulire Anderson Cooper ow’omukutu gwa CNN ne Martha Raddatz ow’omukutu gwa ABC.

 

Newankubadde mu dibeeti eyasooka emikutu gy’amawulire gyamulaga ng’eyawangulwa Clinton ku bitundu 62 ku 100, olwo ye n’afuna ebitundu 27 ku 100, agamba nti ku luno waakukozesa obukodyo obwamuweereddwa Omungereza Nigel Farage eyali omukulembeze w’ekibiina kya Ukip mu Bungereza ekyakola ekinene okulaba ng’abantu mu kalulu k’ekikungo akaategekebwa mu June okubuuza Abangereza oba bava oba okusigala mu mukago gwa Bulaaya abasinga ne basalawo okuguvaamu.

Farage eyaliko mu lukuηηaana lwa Trump mu August, yamutegeezezza nti nga batuuse mu lwokaano, yeewale okuyingirira entalo ennaayize ng’agezaako okwewolereza ku bintu ebitamukwatako Clinton by’agenda okukubawo.

Ye Farage bwe yabadde ku mukutu gwa CNN, yategeezezza nti, “Buli kukonjera Clinton kwakukolako, kwebalame togezaako kwennyonnyolako oba okutangaaza. Amaaso n’ebigambo byolekeze abantu bali mu maka gaabwe ku ttivvi Clinton muveeko.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...