TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba takisi ku lw'e Bugerere basibye abakulembeze baabwe lwa bukadde 49

Aba takisi ku lw'e Bugerere basibye abakulembeze baabwe lwa bukadde 49

Added 10th October 2016

BA dereeva ku siteegi y'e Bugerere bakutte abamu ku bakulembeze baabwe ne babakwasa poliisi nga babalanga okubulunkanya ssente z'ekibiina obukadde 49.

 Kyazze (wakati) ng'atwalibwa ku poliisi

Kyazze (wakati) ng'atwalibwa ku poliisi

BYA MOSES LEMISA

BA dereeva  ku siteegi y'e Bugerere bakutte abamu ku bakulembeze baabwe ne babakwasa poliisi nga babalanga okubulunkanya ssente z'ekibiina obukadde 49.  

Ku Mande ba dereeva ba takisi mu paaka ya Kaleerwe Out Stand Stages  abegattira mu kibiina kya Kaleerwe Bugerere Stage baazinzeeko offiisi  y'ekibiina kyaabwe ne  bapangululamu ebintu byonna saako n'okukwata abamu ku bakulembeze baabwe  be balumirizza okubulankanya  ssente z'ekibiina kyaabwe obukadde 49  ne babakwasa poliisi y'oku Kaleerwe .  

Muhamad Kintu omu ku baatandikawo ekibiina kino  agamba nti bali  bammemba 21 nga buli lunaku babadde batereka emitwalo 15 eziva mu siteegi y'e  Bugerere nga kino bakikoledde omwaka mulamba , yagasseko nti ekibiina kyasooka n'ekigula Takisi nekolaayo omwaka gumu ne bagitunda obukadde 14 kyokka eyagigula n'abawako obukadde 13 ne butekebwa kwa kawunti y'ekibiina ng'ekyewunyisa nazo tezasangiddwayo mu bbanka .

Yategeezezza nti  Isma Mpozza  ssentebe w'ekibiina kyaabwe ne Emmanuel Kyazze omuwandiisi  bazze bakola emivuyo mu ssente z'ekibiina n'e babaguminkirizza nga balowoozza banakyusamu.

 Wiiki biri emabega  lwe baategeera nti kirabika ssente z'ekibiina teziriiyo era ku Mmande baafunye omusirikale eyakutte Swaib Kibuuka ne bagenda mu bbanka ya DFCU kukebeera ssente eziri ku akawunta y'ekibiina ng'eno baasanze esoma Ziro ekyatabudde ba dereeva .  

Yagasseko nti  nga bayita munnamateeka waabwe  owa  Kaweesi and Partners Advocates bammemba baasazewo  nti singa Isma Mpozza ne Emmanuel Kyazze balemererwa okunnyonyola engeri ssente gye zabulankanyizibwamu babatwale mu kkooti.  

Abaakwatiddwa kuliko Emmanuel Kyazze omuwandiisi w'ekibiina , Swaib Kibuuka owa Well Fare nga Swaib obwedda alumirizza Kyazze nti ye yamukozesa ensobi ku ssente ezaali ku akawunti namusabako ezigenda okumulongoosa ensigo .  

Kyazze ng'ali ku Poliisi yasabye ba dereeva bateese era n'abasuubizza okubaddizza ssente obukadde kkumi n'ekitundu ze yajja kwa kawunti okusobola okwejjanjabisa,  

Yagasseeko  ssente endala tamanyi mayitire gaazo nasaba  basooke banoonye Isma Mpozza annyonyole .  

Oluvannyuma  Swaib Kibuuka poliisi yamuyimbudde  oluvannyuma lw'okulumirizza Kyazze nti azze amulagira okusayininga ku mpapula , Kyazze n'emusigazza nga bwe banoonya Isma Mpozza ssentebe w'ekibiina.  Omusango guli ku Fayiro nnamba SD REF: 08/08/10/2016

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu