TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kyapambalaasi agaanyi omulambo gwa mutabani we mu nju

Kyapambalaasi agaanyi omulambo gwa mutabani we mu nju

Added 12th October 2016

MUNNADDIINI Can. James Ddungu Lutaaya eyakazibwako erya Kyapambalaasi olwa kkampuni ye ekola ebizigo awuniikirizza abakungubazi bw’aggalidde omulambo gwa mutabani we n’abakungubazi ebweru n’abagaana okuyingira mu nnyumba.

 Canon Dungu (akute ekifaananyi) , n’omulambo nga guli wabweru.

Canon Dungu (akute ekifaananyi) , n’omulambo nga guli wabweru.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MOSES NSUBUGA

MUNNADDIINI Can. James Ddungu Lutaaya eyakazibwako erya Kyapambalaasi olwa kkampuni ye ekola ebizigo awuniikirizza abakungubazi bw’aggalidde omulambo gwa mutabani we n’abakungubazi ebweru n’abagaana okuyingira mu nnyumba.

David Luyinda Ddungu 53, ow’e Naakuwadde mu Wakiso yafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde. Can. Ddungu ku Lwomukaaga, yalagidde basime entaana n’awa ekiragiro omulambo bagutuusize magombe ne bwe buba buzibye.

Entaana eyasimiddwa ku Lwomukaaga yamaze ennaku bbiri ng’eri awo, ng’abasawo bekebejja omulambo olw’abaana okutankana enfa ya kitaabwe.

Ku Mmande omulambo gwatusiddwa mu maka ga Can. Ddungu nga mu luggya waliwo obutebe wabula ye ne mukyala we baabadde beggalidde mu nnyumba munda gye baavudde ku ssaawa 9:00 ez’emisana.

Rev. Abraham Kisakye owa kkanisa ya Mackay ye yakulembedde okusaba. Luyinda abadde akola n’ebitongole ebikuumaddembe e Somalia ne Iraq ng’ensonda zigamba nti, Ddungu teyasanyuka olw’omwana okuyingira amagye n’okukyusa eddiini n’adda mu Bukatoliki ebyamutabula.

Ddungu yeewuunyisizza abakungubazi bwe yasituse okwogera yasoose kwebaza Uganda Cranes olw’okukuba Comoros n’okusiima Pulezidenti Museveni okumuwa omudaali abakungubazi ne bayomba nga bagamba nti byayogera bituufu naye obude n’ekifo mwabyogerera kikyamu.

Kyokka Ddungu yasambazze ebigambibwa nti abadde yeegaana omwana ono olw’okukyusa eddiini nti ababyogera be batabuzi.

Mulekwa Luyinda annyonNyola Taata ne jjajja Ddungu babadde baafuna obutakkaanya ng’entabwe yava ku kukyusa ddiini.

Taata yatandika okulumizibwa olubuto ku Lwokutaano n’afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro e Lubaga.

Ebyabadde mu kuziika Luyinda yabadde akyagenda mu maaso n’okunnyonnyola ebisingawo ku nkolagana ya kitaawe ne Ddungu, ate Jackson Sembatya jjajja we omulala n’asikawo nga bw’aymba olw’o kwogera eby’awa ka n’am ugamba nti talina kye kimugasa.

Ddungu yesimira entaana ne mukyala we mwe baliziikibwa ku kkanisa ya Uganda Martyrs e Busega. Mutabani we yamuziise Nateete mu Factory Zooni awali ebiggya byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....