TOP

Bamukwatidde mu bubbi n'asaba ekisonyiwo

Added 13th October 2016

Bamukwatidde mu bubbi n’asaba ekisonyiwo

 Abasuubuzi ababbibwa nga bagumbye ku poliisi.

Abasuubuzi ababbibwa nga bagumbye ku poliisi.

OMUKAZI abba abasuubuzi mu butale obw’enjawulo mu Kawempe poliisi emukutte n’asaba be yabba okumusonyiwa. Hadija Nalubega, 32 ow’e Gayaza mu West Zooni, ng’alina, omudaala awaka we mwasiikira muwogo yakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe ku Lwokubiri ng’abasuubuzi bamulumiriza okubabba ensawo ez’omu ngalo mwe batereka ssente n’amasimu.

Bagamba nti olumala okubba ng’akyusa engoye nga kibeera kizibu okumukwata. Nalubega okukwatibwa yasoose kubba nsawo y’omusuubuzi w’emboga mu katale ka Freedom bwe yeefudde omuguzi n’asaba emboga za 200,000/-, nga wano we yabbidde ensawo y’omusuubuzi n’agissa mu yiye ennene kyokka nga waabaddewo amulaba.

Yatemeza ku musuubuzi nti oyo si kasitooma wabula mubbi. Baamuwondedde ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y’oku Kaleerwe. Abasuubuzi okuva mu butale obw’enjawulo beeyiye liisi nga bamulumiriza okubanyagako ensawo zaabwe omuli ssente n’amassimu.

Abasuubuzi abamulumirizza kuliko, Jackie Amige gwe yabbako essimu, Florence Namukasa yamubbako 750,000/-, essimu bbiri ng’esawo mwalimu ne kaadi ya ATM , Jowelia Nalweyiso yamubbako nsawo nga mulimu 750,000/-, Margaret Nankinga yamubbako ensawo nga mulimu 100,000/- , Nalubega kigambibwa nti atambula mu butale obw’enjawulo ng’abba okuli, Mpereerwe akabeerayo buli Lwakutaano, mu Kirokole , ku ttaano e Kawempe, e Mulago ne ku Kaleerwe.

Abasuubuzi okuva mu butale obw’enjawulo beesombodde okulaba omubbi era abasinga bwe baakubye amaaso ku Nalubega ne bakakasa nti ye mukazi gwe babadde banoonya ababba. Baasabye poliisi okumuwalirizza abaddize ebintu bye yabanyaga kyokka n’abasaba bamusonyiwe kuba bba yafa mu 2010 n’amulekera abaana babiri ng’okubba takukozesa kwagala wabula abeera abanoonyeza kyakulaya.

Anet Nantume ow’omu katale ka Freedom yategeezezza nti Nalubega alina ensawo mwasa engoye nga bw’amala okubba ng’akyusizaamu nga kiba kizibu okumukwata Nalubega akyakuumirwa ku poliisi y’oku Kaleerwe ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...

Bobi Wine ne mukyala we Barbi e Kiboga.

Balabudde abaserikale abatu...

AB'EDDEMBE ly'obuntu balabudde nti bagenda kuwawaabira abaserikale abatulugunya abeesimbyewo, buli muserikale bagenda...

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...