
Abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka ku nga bali ku poliisi y'okukaleerwe
POLIISI y'okukaleerwe ng'ekulembeddwaamu Isaac Ongom ekoze ekikwekweto mweyoledee abavubuka 30 abateeberezebwa okubeera abamenyi b'amateeka.
Oluvannyuma lw'okunoonyereza Poliisi yakizudde nti abavubuka bano abasinga bava mu bitundu omuli mulago, Mpererwe, Bwaise, n'ebitundu ebirala.
Isaaca Ongom atwala poliisi y’oku Kaleerwe ategeezezza nti waliwo abavubuka abakwatibwa nga tebalina biwandiiko biboogerako nga kaadi y’e Kyalo ng’ate abamu balimba n’ebitundu gye babeera nga wano we yasabidde ba LC okuwandiika abatuuze baabwe nga kino kijja kuyambako okwanguyizza poliisi okulwanyisa obumenyi bw'amateeka.