TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe w'e Lyantonde alabudde abaakozesa obubi ez'Abavubuka

Ssentebe w'e Lyantonde alabudde abaakozesa obubi ez'Abavubuka

Added 14th October 2016

Ssentebe w'e Lyantonde alabudde abaakozesa obubi ez'Abavubuka

Bya FLORENCE TUMUPENDE.

SENTEBE wa disitulikiti y’e Lyantonde Fred Muhangi alabudde abavubuka abaafuna ssente z’abavubuka ezabaweebwa Pulezidenti Museveni ne badda mu kuzikolamu embaga. 

Sentebe Muhangi yalaalise nga bwagenda okubakangavvula ng’ayita mu mateeka agabalambika kuba bano be bongedde okubaswaza n’okuzza Lyantonde emabega.

Muhangi agambye nti wakusookera mu ggombolola ye Lyakajjula akwate abavubuka abaalya ssente mu kifo ky’okuzikolamu ebintu eby’enkulaakulana ate n’abo abagamba nti bazirimamu emwaanyi n’ezifa omusana n’okulundamu embizzi,embuzzi n’enkoko ne bifa balina okumulaga gye basuula emirambo gyazo

Muhangi agambye nti siwakutuula butuuzi ng’ensimbi za Gavumenti zonooneka mungeri etategeerekeka era kano kekaseera bamanye nti ebintu ebibasakibwa tebiba bya kwegalabanja.

Yalabudde  n’abakyala okuba abegendereza ku sente zaabwe ezigenda okuggya nti z’abakyala ab’omubyalo naddala abo ab’enyigira mu bibiina be bagenda okufuna abatali mu bibiina tebagenda kufuna yadde ekikumi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...