
Omuapakasi eyakazibwako erya Mukiga. Ku ddyo ye Eulaliyo Nakalanzi 89 gw'agambibwa okutta
Bya Phiona Nannyoma
Abatuuze ku kyalo nyendo kirinda mu muluka gw’e kalagala mu ggombolola y’e mukungwe e masaka baaguddemu encukwe omupakasi bw’asse mutuuze munnaabwe mu bukambwe n’abulawo.
Eulaliyo Nakalanzi 89, ye yattiddwa omupakasi abadde yakazibwako erya Mukiga bwe yafunamu obutakkaanya naye gye buvuddeko.
Abatuuze bagamba nti Nakalanzi yannyoleddwa nsingo n’okumumenya embirizi olwo omulambo n’agusibira mu nyumba n’ateekako amakufulu.
Wabula abamu ku batuuze baalumiriza abamu ku b’ehhanda za Nakalanzi nti bandiba nga be baapangisizza Mukiga okutta mukama we olw’okuba nti babadde baludde nga balina obutakkaanya ng’entabwe eva ku nkaayana z’ettaka.
Wabula ye akulira ebyokwerinda ku kyalo kino, Denis Lubega yategeezezza nti enkaayana wakati wa Nakalanzi n’ab’ehhanda ze zibadde zitutte akaseera ngolumu omugenzi yeekubirako enduulu ku poliisi e Masaka okufuna okuyambibwa.
Lubega yagambye nti poliisi yalagirako omu ku w’oluganda lwa Nakalanzi amuviire ku ttaka.