
Minisita Nantaba ng’alambula ettaka eririko enkaayana.
Minisita w’ebyassaayansi ne tekinologiya, Aidah Nantaba agambye nti newankubadde yava mu Minisitule y’ebyettaka, tekigenda kumulobera kulwanirira bantu ba mu kitundu kye ky’atwala ng’omubaka okunyigirizibwa abagagga ku ttaka.
Ku Mmande, yabadde ku kyalo Ndeeba mu Tawuni Kanso y’e Kayunga okuyambako omutuuze Bendicto Kaate alumiriza omugagga eyategeerekeseeko erya Nambi obutamutwalako ttaka lye.
Kaate agamba kitaawe omugenzi Ntonio Semanda ye yakimulekera.
Yannyonnyodde nti gye buvuddeko yawulira nga bwe waliwo omugagga eyali aguze ettaka okutudde ekibanja kye kwe yali asimbye emiti omuli kalittunsi ne payini kyokka ne wayita mbale ng’alaba omukyala aleeta abantu nga basiba sseng’enge ku kibanja kino awataali nteeseganya yonna.