TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNBS yaakuteeka akabonero k'omutindo ku buli kyamaguzi

UNBS yaakuteeka akabonero k'omutindo ku buli kyamaguzi

Added 21st October 2016

UNBS yaakuteeka akabonero k’omutindo ku buli kyamaguzi

 Ejaru

Ejaru

EKITONGOLE ky’omutindo mu ggwanga kitandise enkola y’okussa akabonero k’omutindo (Q-Mark) ku buli kyamaguzi ekiyingizibwa n’okukolebwa mu ggwanga nga ka buwaze mu kaweefube w’okukakasa nti ebya maguzi byonna ebiri ku katale bya mutindo.

Bw’abadde ayogera eri abasuubuzi abayingiza kuno ebintu mu kisenge omutuuzibwa enkiiko mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugongo, amyuka akulira ekitongole ky’omutindo, Patricia Ejaru agambye nti enkola eno yatandika dda kyokka wabaddewo okusoomoozebwa okw’enjawulo okubadde kukyabalemesezza okugissa mu nkola naye kati bagenda kutandika okusomesa abantu nga batandikidde ku basuubuzi abayingiza ebyamaguzi okuva mu mawanga gonna.

Agamba nti bagenda kukwatagana n'ebitongole eby'enjawulo mu minisitule, abakulembeze nga KCCA n'aba disitulikiti okulaba nga bassa kino mu nkola.

David Eboku, avunaanyizibwa ku kuzimba n'okuteekateeka emitindo mu kitongole kino, agambye nti abasuubuzi ne bannamakolero balina okukakasa nti ebyamaguzi byabwe birambiddwa bulungi nga biraga erinnya ly’ekyamaguzi ne kkampuni ekikola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Moreen ng'ali ku kitanda e Mulago.

Poliisi enoonya omuvubuka e...

POLIISI y'e Namasuba eri ku muyiggo gw'omuvubuka agambibwa okuyingirira omuwala e Namasuba n'amutema n'addusibwa...

Nakimuli (ku kkono y'afudde) ate ku ddyo ng'ali ne mukwano gwe.

Ekikomera ky'omugagga kigwi...

Ekikangabwa kigudde mu kyalo Kibwa e Nansana ekikomera ky'omugagga ategeerekese nga Hajji Ssemakula bwe kigwiiridde...

Amazaalibwa ga Kabaka ag'em...

Abantu okuva e Bule n'e Bweya beeyiye mu Lubiri e Bulange - Mmengo okwetaba ku mukolo gw'okukuza amazaalibwa ga...

Hudu ng'ayogera eri bannamawulire ku Media Centre.

Abakulembeze abakyeremezza ...

RCC wa Kampala Hudu Hussein asekeredde abakulembeze b'omu butale abaggyibwako kyokka ne basigala nga balwana okubwezza...

Kkwaaya ng'eyimba ennyimba z'Amazuukira.

Bayimbye ennyimba z"Amazuukira

Abakulisitaayo bakubiriziddwa  okudduukurira n'okubeeea obumu n'abayimbi mu Kkanisa mu nkola ey'okubunyisa enjiri.....