TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yaaya atuze bbebi gw'azadde n'amusuula mu kinnya

Yaaya atuze bbebi gw'azadde n'amusuula mu kinnya

Added 22nd October 2016

YAAYA Sylvia Monica Natukunda 17, abadde akolera omusuubuzi w’omu katale e Banda Milly Namwanje, atuze bbebi we gw’abadde yaakazaala n’amusuula ku ttale e Kireka D.

Poliisi ng’esaggula ensiko e Kireka Natukunda (gwe bakutte) gye yasoose okubalimba nti gy’asudde omwana. Mu katono bw’afaanana.

Poliisi ng’esaggula ensiko e Kireka Natukunda (gwe bakutte) gye yasoose okubalimba nti gy’asudde omwana. Mu katono bw’afaanana.

YAAYA Sylvia Monica Natukunda 17, abadde akolera omusuubuzi w’omu katale e Banda Milly Namwanje, atuze bbebi we gw’abadde yaakazaala n’amusuula ku ttale e Kireka D.

Namwanje yagambye nti yaaya ono yazaala ku Ssande ng’omwana abadde abeera naye awaka nga yeeyamutwala ne mu ddwaaliro buli kimu n’akisasula. Agamba nti ku Lwokuna yagenze mu katale okukola, kyokka bwe yakomyewo awaka , teyafuddeyo n’anaaba ne yeebaka, wabula bwe bwakedde n’amubuuza omwana we n’amugamba nti yafudde n’amusuula ku ttale.

Namwanje yagenze ku poliisi e Kireka n’awaaba, poliisi n’esitukiramu okukwata Natukunda ababuulire omwana w’ali.

Poliisi ng’ekulembeddwaamu Bakari Matende akwanaganya poliisi n’omuntu waabulijjo ku poliisi e Kireka, yakutte yaaya ono abatwale w’asudde omwana, wabula n’asooka n’abasagguza ebibira mu Kireka D ng’agamba nti we yamusudde, oluvannyuma n’abagamba nti yamusudde mu kaabuyonjo emu e Kireka, abazinyamwoto ne bagisima nga taliimu ne bamuteekako akazito okutuusa lwe yabatutte mu kinnya we basuula kasasiro e Kireka nga ku lidda e Namboole.

Kino kyaggye abatuuze mu mbeera ne batandika okukuba Natukunda nga bwe bamucoomera. Yeewozezzaako nti muganzi we Wasswa Tumwesigye abadde tamuwa buyambi okuva lwe yamufunyisa olubuto ekimuwalirizza okutta omwana. 

Akulira bambega ku poliisi e Kireka, Mugabi yategeezezza nti baamugguddeko ogw’obutemu ku SD REF ;08/20/10/2016 ku poliisi e Kireka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...