
Isaac Lwenge ng'ali ku Poliisi e Kireka. EKIF: TONNY KIYEMBA
Bya TONNY KAYEMBA
Poliisi y’e Kireka ekutte n’eggalira omuvubuka eyayingidde ‘Supermarket’ y’essundiro ly’amafuta erya Super Oil ku lw’e Namugongo n’abbamu emikebe gy’amata ebiri atwalire abaana beenywere.
Omukwate ye Isaac Lwenge (28) ng’ono yalabiddwa kkamera eziri mu ‘Supermarket’ eno ng'asonseka emikebe gy’amata mu mpale we yamalirizza ne yeefuula anoonya ebintu ebirala eby’okugula.
Olwatuuse okufuluma ne yeebuzabuza ng’alaga by’abadde ayagala okugula tabifunye, yalagiddwa abakwata ssente ku kawunta okuggyayo emikebe gy’amata gy’asonsese mu mpale kyokka n’asooka yeegana, ekyawalirizza abakozi okuyita Askari eyamwambudde ku mpaka ne bagimuggyamu! Yabadde agisonsese mu andaweya!
Lwenge yagezezzaako okwewozaako nga bw’abadde atwalira abaana be amata banyweeko kuba talina ssente zigagula, n’asaba bamusonyiwe kuba guno gwe mulundi gwe ogusoose okunyigira mu bubbi bw’ekika kino.
Baamuyisizzaamu empi ezaamangu gattako emigere ne bamukunguzza yogaayoga ku Poliisi y’e Kireka n’aggulibwako omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba, SD: 32/21/10/2016 n’aggalirwa.