TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte abachina abakozesa obubi ebidduka

Poliisi ekutte abachina abakozesa obubi ebidduka

Added 4th November 2016

Poliisi ekutte abachina abakozesa obubi ebidduka

 Abachina abakwatiddwa olw'okubina emmotoka obuzito obusukkiridde

Abachina abakwatiddwa olw'okubina emmotoka obuzito obusukkiridde

POLIISI  n'amagye beezoobye   n'Abachina  abaakwatiddwa nga  basaabaza omusenyu   ogutikkiddwa mu ngeri emenya amateeka  kyokka bwe bagezezzaako okubannyonnyola ekikwasiozza emmoytoka nga tebategeera lungereza


Mmotoka  z'omusenyu ttaano nga kika kya Sinotrack okuva mu ggwanga lya China zezaakwatiddwa  ku Lwokuna   ku poliisi ye Lubowa  oluvannyuma  ne zitwalibwa ku  poliisi y'e Kisubi . .

John Bosco Sejjemba akulira ebikwekweto mu kitongole kya  UNRA  yagambye nti  batutte ekiseera nga balabula ab'ebidduka naddala abasaabaza omusenyu n'amayinja okuba nga bagobera obuzito obulagibwa mu mateeka okusobola  okutaasa  enguudo Gavumenti kwesaasanyiza obutitimbe bw'ensimbi.


Sejjemba yagambye  Abachina bano  bagenda kutwalibwa mu kkooti  bavunaanibwe  era n'okuwa engassi okusinziira ku  balamuzi kyebanaaba  basazeewo.


Ebibonerezo ku mmotoka  eziba zikwatiddwa ng azitisse obuzito  obusuukiridde  biva ku ngassi ya 200,000 okutuuka ku 1,200,000   ng'omulamuzi ayinza okusalawo okukola byombiriri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...