
Ssentebe Joseph Kityo (mu ssuuti), ng’akutte emmindi n’eddagala mu bipapula bye baasanze ne Daudi Asiimwe gwakutte ku mukono.
BAASOOSE kumulaba ng’awuddiisa Maria Gorreti Ekyonda obutagenda mu lukiiko lwa kkooti omulamuzi mwe yabadde agenda okulambula olukuubo lwa kaabuyonjo Ekyonda lw’akaayanira ne Erias Ddumba Kyagulanyi.
Waayiseewo eddakiika mbale Daudi Asiimwe gwe balumiriza okuba omusamize wa Ekyonda n’atuuka mu lukiiko n’atuula nga bw’akwata ku mmindi eyabadde mu mpale ne bamugamba yee yanjule n’agaana.
Bino byabadde ku kyalo Kyengera mu Mugongo Zooni A, Ssentebe Joseph Kityo yamulagidde aggyeyo ebimwogerako Asiimwe n’akwata essimu n’atandika okukubira be yayise ‘ ba Afende’, era wano olutalo we lwatandikidde abatuuze ne bamusikaasikanya n’okumuyisaamu empi nga bamulumiriza okuwubisa Ekyonda n’ebyawongo.
Baamwazizza ne bamusanga n’emmindi n’eddagala essabike mu kapapula ne bamubuuza ky’abadde abikozesa nga taddamu.
Abavubuka baamukubye n’okumusamba nga bamulumiriza okuba omulogo kyokka nga yeegaana nti ye mukinjaagi tabangako mulogo ng’ebyawongo bye baamusanze nabyo bintu bye yeekuumisa ng’omusajja omusuubuzi.
Bino okubaawo Ekyonda yabadde atudde ku dduuka eririraanyewo era olwawulidde nti waliwo gwe bakutte yadduse ne yeesibira mu nnyumba.
Olukiiko lwasoose kuyisa kiteeso Ekyonda ave ku kyalo olw’empisa embi ssaako n’okuyisa amaaso mu bakulu b’oku kyalo.
Olukiiko lwabadde lukubirizibwa, Kityo yagambye nti ensonga za Kyagulanyi ne Ekyonda bazze bazituulamu naye nga Ekyonda tamatira bisaliddwaawo ate bwe bamuyita mu lukiiko lw’ekyalo talabikako n’asalawo okugenda mu kkooti.
Kyagulanyi ne Ekyonda bakaayanira olukuubo olwawula ennyumba zaabwe nga luno lwe lutwala Kyagulanyi mu kaabuyonjo ye.
Kyagulanyi yagambye nti yagula poloti eno mu 1995, era bwe yafuna obuzibu mu by’ensimbi kwe kusalawo okuguzaako Prossy Nassuuna ffuuti 30-60 ku 4,200,000/- naye eyaguza Ekyonda gwe bakaayana naye.
Ekyonda yazimba n’amalayo poloti ne bakkaanya buli omu yeefiirize ffuuti bbiri bafune we bayita n’okugenda mu kaabuyonjo kyokka ne yeefuula nga kati kye kibakaayanya.