TOP

Meeya ayagala kkanso eteese mu Luganda

Added 5th November 2016

Abalala baakisanyukidde ne bagamba nti kijja kubawonya kuba ensonga baba beetaaga okuzinnyikiza nga basobola kukikola bulungi nga bateesa mu lulimi lwe beegazaanyizaamu.

 Meeya Mulyannyama nga bamukwasa lipooti ekwata ku bikoleddwa mu myezi esatu.

Meeya Mulyannyama nga bamukwasa lipooti ekwata ku bikoleddwa mu myezi esatu.

Bya HANNINGTON NKALUBO ne MARGARET ZALWANGO

BAKANSALA mu lukiiko olufuga Munisipaali y’e Makindye bakubaganye empawa ku kiteeso kya Meeya Kasirye Nganda Mulyannyama eky’okukkiriza abakaluubirirwa okuteesa mu Lungereza ensonga zaabwe bazoogere mu Luganda.

Abakiise okuli Bob Muhumuza ne John Tukayineyo baakiwakanyizza ne bategeeza nti etteeka likkiriza kuteesa mu Lungereza okuggyako nga waliwo asabye mu butongole olwo n’akkirizibwa okwogera ekigambo mu Luganda naye nga tebalifudde tteeka.

Tukayineyo owa Kibuli yagambye nti singa Oluganda lukirizibwa abantu bagenda kwogera n’ebiteetaagisa.

Kyokka abalala baakisanyukidde ne bagamba nti kijja kubawonya kuba ensonga baba beetaaga okuzinnyikiza nga basobola kukikola bulungi nga bateesa mu lulimi lwe beegazaanyizaamu.

Town Clerk Godfrey Kisekka yabawabudde nti amateeka gakkiriza kyokka kalaani n’alungamya nti kyetaaga nga kitandikiddewo ng’olukiiko lwakatandika.

Ekiteeso kyayongeddwaayo mu lutuula.

Ate Omubaka wa Pulezidenti atwala Makindye, Henry Kitambula eyakyusiddwa asiibudde olukiiko n’ategeeza nti ekibuga kimusadde kuba akivuddemu ng’entegeka za Pulezidenti Museveni okussa ssente mu Bannakampala ziri mu ggiya nnenne.

Kitambula yategeezezza olukiiko olwatudde ku Lwokuna e Buziga Resort Hotel nti, Museveni agenda kuwa SACCO eziwera 1,600 mu Kampala obukadde 20 buli kibiina ate Gavumenti egenda kwongera ku malwaliro agaliwo ekiseera kino.

Kitambula yatenderezza Meeya Mulyannyama nti ebbanga ly’amaze mu Ntebe babadde bakolagana bulungi era n’amusaba n’olukiiko lwe bakuume ettaka ly'eggombolola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...