
Owa tulafiki ne takisi ye nseenene gye yakutte.
Bya Samuel Balagadde
ABASUUBUZI n'abakwata ensenene sizoni y'omwaka guno eya November ebatandikidde bubi olw'ebikwekweto bya tulafiki ebya Fika Salama okukwata mmotoka ezibadde zizisaabaza mu ngeri emenya amateeka.
Abasuubuzi baazo baludde nga bateeka ebikutiya byazo mu madirisa , mu mitto ne mu bbuutu za takisi ne mu mmotoka za buyonjo,ekintu ekimenya amateeka.
Ekikwekweto kya Fika Salama ekiri wa kati wa poliisi y'ebidduka n'ekitongole ky'eby’enguudo ekya UNRA baliko mmotoka z'ensenene ze baakutte era ba ddereeva ne bavunaanibwa mu kkooti. Mmotoka ez'enjawulo omuli n'ezaabadde zitisse ensenene zaakwatiddwa mu kikwekweto kya Fika Salalaama e Nakasongola era nga banannyini byo n ebasindikibwa mu kkooti.
John Bosco Sejjemba akulira ebikwekweto mu kitongole kya UNRA yagambye ebikwekweto bino bigendererwamu lwa bulungi bw'abasaabaze ssaako n'abantu abalala abeyambisa enguudo. Yagambye nti ensenene okuzissa mu madirisa ga takisi oba mu mmotoka za buyinjo ddereva aba tasobola kulaba bulungi kiba kigenda mu maaso ku nguudo n'ekiddirira bwe bubenje.
Kino kiijjidde mu kiseera ky'ebikwekweto bino ebyatandikira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka nate bibunyisiddwa ku nguudo endala mu ggwanga.
Ba ddereeva abasukka mu 3,500 bebakakwatibwa mu kikwekweto kino ekyatongozebwa nga 11 August omwaka guno era nga ssente ezisukka mu 600 zezaakakunganyizibwa mu ngassi.