TOP

Kayihura akyusizza abaserikale

Added 8th November 2016

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale n’akyusa abaserikale 69 okuva mu ofiisi ze babaddemu.

 Kayihura akulira poliisi ya Uganda

Kayihura akulira poliisi ya Uganda

Bya Eria Luyimbazi

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale n’akyusa abaserikale 69 okuva mu ofiisi ze babaddemu.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga kiriko omukono gw’omumyuka we, Okoth Ochola, Gen. Kayihura yalonze ACP Francis Olugu okubeera omumyuka w’omuduumizi w’ekitongole ekirwanyisa abazigu b’emmundu (Flying Squad), Herbert Muhangi.

Era yayongedde abasirikale abalala 28 abali ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police mu kitongole kya Flying Squad nga bano baabangulwa mu ttendekero lya poliisi e Masindi era baakukulira abalala abazzibwayo okutendekebwa.

Mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango abaserikale abamu baggyiddwa mu ofiisi zaabwe ne babasindika awalala.

Bano kuliko D/ASP Nusura Kemigisha abadde OC CID ku poliisi e Kabalagala nga yasindikiddwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu kya Kiira (Jinja).

Ekifo kye kyazziddwaamu Ben Mugisha abadde e Kibale. D/SP Rashida Mugawe abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu ky’e Katonga yatwaliddwa ku kitebe kya CID e Kibuli, D/SP Abbey Tashobya yasindikiddwa Bukomansimbi nga OC CID, D/SP Ignatius Tinka Zarubuga kati y’akulira ekitongole ekirwanyisa enkozesa y’ebiragalalagala, n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga n'ebikonge...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga n'abakungu be gattako ebikonge mu Gavumenti eya wakati abeetabye mu kitambiro...

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....