TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Trump oba Clinton; Bombi bawera, abawagizi bali ku bunkenke

Trump oba Clinton; Bombi bawera, abawagizi bali ku bunkenke

Added 8th November 2016

Ku bukadde bwa ddoola 100 Trump ze yasuubiza okussaawo, kigambibwa nti yakozesezza obukadde bwa ddoola 70 ssente endala ezisoba mu ddoola obukadde nga 200 ( mu za Uganda obuwumbi nga 700 ) yazifunye okuva mu bantu abaazimutonedde.

 Clinto n'abawagizi be, mu Katono ye Trump

Clinto n'abawagizi be, mu Katono ye Trump

 Bya MUSASI WAFFE

EKYAFAAYO ekirala kikolebwa leero mu Amerika! Abalonzi obukadde 140 basalawo leero ani ku mukazi Hillary Rodham Clinton 69, ne nnaggagga Donald John Trump 70, agenda okudda mu bigere bya kadduggala Barack Hussein Obama II 54, nga Pulezidenti asinga amaanyi mu nsi yonna.

Enjuyi zombi ziri ku bunkenke oluvannyuma lwa Trump okwongera okufunza nga balonda olwaleero. Emyaka munaana egiyise, nga November 4, 2008, Barack Obama yassaawo ekyafaayo ng’omuddugavu eyasooka mu byafaayo bya Amerika okulondebwa ku bwapulezidenti. Kati Hillary Clinton ne Donald Trump batunuuliddwa nabo okussaawo ekyafaayo.

Singa Hillary Clinton awangula akalulu ng’abasinga bwe bakisuubira, agenda kussaawo ekyafaayo ng’omukazi asoose mu byafaayo bya Amerika okulya obwapulezidenti obw’ensi esinga amaanyi.

Mu ngeri y’emu ajja kuba akoze ekyafaayo ekirala eky’okufuuka Pulezidenti so nga ne bba Bill Clinton yali Pulezidenti w’eggwanga lino. Nnaggagga Trump n’amala awangula akalulu, agenda kussaawo ekyafaayo ng’omuntu akyasinze obukadde okulondebwa ku bwapulezidenti bwa Amerika.

Trump ow’emyaka 70 n’emyezi musanvu anaaba amenyewo likoda ya Ronald Reagan eyalondebwa ku bwapulezidenti nga November 4, 1980 nga wa myaka 69 n’ennaku 349.

ENTIKKO

Olwaleero y’entikko ya kampeyini ezimaze kumpi omwaka gumu n’ekitundu nga Hillary Clinton ne Trump basaggula akalulu mu masaza ga Amerika 50.

Hillary Clinton ye yasooka okulangirira mu butongole nga April 12, 2015 nga bwe yali asazeewo okwesogga olwokaano okuvuganya ku kaadi y’ekibiiba kya Democrats okwesimbawo ku bwapulezidenti wa Amerika.

Guno gwali mulundi gwakubiri nga Hillary avuganya mu kamyufu ka Democrats nga yasooka mu 2007, Obama n’amuwangula.

Nga July 26, 2016, Clinton yalangirirwa mu butongole mu ttabamiriuka w’ekibiina kya Democrats n’assaawo ekyafaayo ng’omukazi eyasooka okusimbibwawo ekibiina ggaggadde ku bwapulezidenti.

Nnaggagga Trump yalangirira mu butongole nti waakuvuganya ku bwapulezidenti nga June 16, 2015 n’avuganya mu kamyufu k’ekibiina kya Republica okutuusa lwe yalangirirwa mu butongole nga Kandideeti w’ekibiina ekyo nga July 19, 2016. Era n’assaawo likodi y’okuyoola obululu obkuyasinze mu kamyufu k’ekibiina ekyo. Bombi, Trump ne Clinton bakubye kampeyini eza kaasammeeme okumala emyezi ena.

KAMPEYINI ZIMAZEEWO OBUWUMBI 2,600

Hillary Clinton y’asinze okusaasaanya ssente mu kampeyini ng’omwezi gwa October 2016 we gwaggweereddeko yabadde yaakasaasaanya ddoola obukadde 556 (mu ssente za Uganda obuwumbi obusoba mu 1,946).

Nnaggagga Trump, omu ku basajja abasinga obugagga mu Amerika, yategeeza nga yaakalangirira nti agenda kwesimbawo nti waakukwata ku ssente ze ezibalirirwa mu buwumbi bwa ddoola nga buna ( eza Uganda 14,000) atooleko obukadde 100 (eza Uganda obuwumbi nga 350) azisse mu kampeyini ze.

Ku bukadde bwa ddoola 100 Trump ze yasuubiza okussaawo, kigambibwa nti yakozesezza obukadde bwa ddoola 70 ssente endala ezisoba mu ddoola obukadde nga 200 ( mu za Uganda obuwumbi nga 700 ) yazifunye okuva mu bantu abaazimutonedde.

Bombi Trump ne Clinton basaasaanyizza ensimbi ezisoba mu buwumbi 2,600 eza Uganda.

CLINTON ALINA ENKIZO

We bwazibidde eggulo ng’okunoonyereza okuva mu balonzi kulaga nti Hillary Clinton akyalina enkizo ku Trump singa akalulu kakubwa kati. Okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ekya Bloomberg kwalaze nti Clinton yabadde alina obululu ebitundu 44 ku 100 nga Trump alina obululu ebitundu 41 ku 100.

Wabula ensiitaano ey’amaanyi wakati wa Clinton ne Trump eri mu masaza nnampawengwa 11; Colorado, Florida, Iowa, Michigan, Nevada, New Hampshire, North Carolina, Ohio, Pennsylvania, Virginia ne Wisconsin nga gano ge gagenda okusalawo ani anaawangula akalulu. Trump bw’aba waakuwangula Clinton, ateekwa okuwangula amasaza agasukka mu mwenda ku masazza 11 olwo agagatte ku masaza agamanyiddwa nti ga kibiina kya Repulican okuli; Nebraska, Missouri, Arkansas, Texas, Indiana, Mississippi, West Virginia n’amalala.

Ne Clinton bw’aba wakuwangula akalulu alina okuwangula amasaza agasukka mu mwenda ku masazza 11 ga nnampawengwa agagatte ku masaza agamanyiddwa nti ga Bannakibiina kya Democrats okuli California, New York, Rhode Island, Vermont, Washington, Deleware, Hawaii n’amalala olwo amegge Trump kyabugazi.

We bwazibidde eggulo nga Clinton aleebya Trump mu masaza ga nnampawengwa era ng’abawagizi ba Clinton batandise okucacanca nti bagenda mu White House. Clinton yabadde akulembedde mu masaza 5 agaliko ensitaano; Michigan, Virginia, Wisconsin, Maine, New Mexico nga Trump akulembedde mu ssaza limu lyokka Arizona Mu masaza munaana; Florida, Ohio, Nevada, North Carolina, Pennsylvania, Colorado, New Hampshire, Iowa embiranye yabadde y’amaanyi nnyo nga Trump ne Clinton , buli omu akyasobola okuwangula essaza eryo ku ssaawa esembayo.

Enkambi ya Clinton yabadde afunyeemu ku buweerero, ekitongole kya FBI bwe kyalangiridde ku Ssande nti tekimunoonyerezaako era talina musango gwonna ku by’ekuusa n’amabaluwa aga Emali agasoba mu mitwalo mukaaga n’ekitundu ge yakukusa bwe yali Minisita wa Amerika ow’ensonga ezebweru Trump yayombye buyombi n’alumiriza aba FBI okwekobaana ne Clinton gwe yalumiriza nti mumenyi w’amateeka alina okusibwa. Lindirira enkya ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...