TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze bawambye tulakita ebadde ebasenda ku ttaka

Abatuuze bawambye tulakita ebadde ebasenda ku ttaka

Added 9th November 2016

POLIISI n’abatuuze bazingizza ttulakita ebadde ereeteddwa abamu ku b’oludda olukaayanira ettaka okusenda ebibanja ng’omusango gukyali mu kkooti.

 Ttulakita ebadde esenda abantu ku ttaka eyawambiddwa.

Ttulakita ebadde esenda abantu ku ttaka eyawambiddwa.

Bya JOSEPH MUTEBI

POLIISI n’abatuuze bazingizza ttulakita ebadde ereeteddwa abamu ku b’oludda olukaayanira ettaka okusenda ebibanja ng’omusango gukyali mu kkooti.

Omusango gwatandise eggulo okuwulirwa. Ttulakita yatuuse ku ttaka erisangibwa e Mutundwe mu Kitawuluzi Zooni ku ssaawa nga 2:00 ez’oku makya ng’ewerekeddwaako bakanyama okuva e Masajja n’e Busaabala abasoba mu 100 ne batandika okusenda n’okumenya kaabuyonjo eyabadde ku ttaka.

“Nabadde hhenda mu kkooti Enkulu mu Kampala, eggulo okubaawo nga batandika okuwulira omusango oguli wakati wa Nakalema ne Matovu Ddungu nga buli omu agamba nti ekibanja kino ekiwezaako yiika bbiri kikye ne nfuna essimu okuva eri ssentebe ng’ansaba okugenda ku ttaka okulaba ekiguddewo,” oweebyokwerinda ku kyalo kino Ronald Kironde bwe yategeezezza.

Yagambye nti nayise poliisi y’e Nateete ne Mutundwe era twagenze okutuuka nga ddereeva ne bakanyama abaabadde baleeteddwa okusenda ekibanja batandise.

Bwe baatulabye ne badduka ttulakita ne bagirekawo. Ttulakita eno bwe baabadde bagitwala ku ttaka baatomedde ennyumba y’omutuuze n’oluvannyua n’etandika okusenda ettaka. Bannannyini nnyumba nga bayambibwako abatuuze baawambye ttulakita era ne poliisi n’ebayambako okuginyweza.

Kironde yagambye nti ettaka lino erikaayanirwa lyali lya nnamukadde Christine Nakalema eyafa emyaka 30 egiyise wabula n’abulwa ow’oluganda lwe ng’ate yafa tazadde, abakakiiko k’ekyalo ne basalawo ne bamuziika ku kibanja kino.

Wabula oluvannyuma waavaayo omukazi Nakalema n’agamba nti ono yali ssenga we. Ng’ate waliwo n’omwami Matuvu Ddungu yali aleese endagaano ku LC1, ng’alaga nti omugenzi Nakalema yali yamuguza ekibanja kye nga tannafa.

Baagenda mu kkooti, Ddungu n’awangula omusango era naffe n’atuguza ku ttaka lino.

Nze yanguzaako ekibanja kya ffuuti 75 ku 100 n’abalala ne bagulako, ekitundu ekyasigalawo ne bakiwa abatuuze balimireko emmere wabula eggulo twewuunyizza omusango lwe gubadde gutandika okuwulirwa ate ab’oludda lwa Nakalema ne baleeta abattulakita basende ettaka.

Akulira poliisi y’e Mutundwe Shaban Mugenyi yategeezezza nti akitegeddeko nga waliwo wannyondo wa kkooti eyababuzizzabuzizza n’abawa ebiwandiiko ebifu nga tekuli mikono gimala nti kiragiro kya kkooti ekibakkiriza okusenda ebirime by’abantu.

Yagambye nti bwe baakitegedde nti kye bakola kikyamu kwe kudduka nga batidde abantu okubagajambula. Wabula ttulakita yabadde ekyakuumibwa poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...