TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuwangula kwa Trump kweraliikirizza Abasiraamu n'abali ku kyeyo mu Amerika

Okuwangula kwa Trump kweraliikirizza Abasiraamu n'abali ku kyeyo mu Amerika

Added 10th November 2016

Mu nnaku 100 ezisooka, Nnaggagga Trump yategeeza nti agenda kuba ng’azizza Amerika ku ntikko nga buli Mumerika w’ali amwenya Abaawulira Trump ng’alangirira by’agenda okukola mu nnaku ze 100 nga Pulezidenti wa Amerika katono bafe enseko kubanga ekyo kye kiseera, Trump lwe yali yeekwata ku bisubi nga Hillary Clinton ky’amukola mu kalulu, enkoko baana.

 Abaddugavu n’abawagizi ba Hillary Clinton nga banakuwavu olw’ebyavudde mu kalulu.

Abaddugavu n’abawagizi ba Hillary Clinton nga banakuwavu olw’ebyavudde mu kalulu.

Bya MUSASI WAFFE

NGA October 22, 2016, Donald Trump yakuba olukuηηaana mu kibuga Gettysburg mu ssaza ly’e Pennsylvania n’alangirira ebintu by’asookerako mu nnaku ze 100 ezinaasooka mu White House nga Pulezidenti wa Amerika.

Mu nnaku 100 ezisooka, Nnaggagga Trump yategeeza nti agenda kuba ng’azizza Amerika ku ntikko nga buli Mumerika w’ali amwenya Abaawulira Trump ng’alangirira by’agenda okukola mu nnaku ze 100 nga Pulezidenti wa Amerika katono bafe enseko kubanga ekyo kye kiseera, Trump lwe yali yeekwata ku bisubi nga Hillary Clinton ky’amukola mu kalulu, enkoko baana.

Olwo, waali wabula ennaku 16 okutuuka ku lunaku lw’okulonda, ng’okunoonyereza ku balonzi kulaga nti Hillary akalulu yakawangula dda, asigadde kulangirirwa ng’omukazi asoose mu byafaayo bya Amerika okulya obwapulezidenti.

Trump waakulayizibwa nga Pulezidenti wa Amerika owa 45 nga January 20, 2017, atandike okukulembera ensi esinga amaanyi. Bino Trump by’asookerako:

OKUSANGULAWO OBAMA

Mu lukuηηaana lw’e Gettysburg, Trump yategeezezza nti mu ssaawa 24 ezisooka ng’atudde mu Oval Office (Ofiisi ya Pulezidenti wa Amerika), agenda kusooka kuyita ebiragiro ebiyitibwa “ Executive Orders”, ng’asazaamu kye yayita kacica wa Pulezidenti Barack Obama gw’akoze mu myaka omunaana nga Pulezidenti wa Amerika.

Obama, okufaananako nga ba Pulezidenti abalala, alina ebintu bye yeenyumirizaamu by’akoze ne byataddewo mu Amerika bye yandyagadde okukuumibwa , kyokka bino, Trump by’agenda okusookerako okusuula mu kasero.

Ekimu ku bintu bya Obama by’ataddewo ly’etteeka ery’ebyafaayo ku by’obulamu, eriyitibwa “The Patient Protection and Affordable Care Act” eyakazibwako erya Obama Care, Pulezidenti Obama lye yassaako omukono nga March 23, 2010 wakati mu kuwakanyizibwa naddala ab’ekibiina kya Republican omuli ne Trump.

Ng’oggyeeko etteeka eryo, ebirala Obama by’akoze kyokka nga Trump agenda kubisazaamu ze ndagaano ez’ebyobusuubuzi n’amawanga amalala okuli n’eya Trans-Pacifi c Partnership (TPP), endagaano ya Nukiriya ne Iran, okusala ku misolo naddala amakampuni amatonotono, enkyukakyuka mu katale k’emigabo n’ensimbi akayitibwa Wall Street, endagaano ewaliriza amawanga agalina ebyokulwanyisa ebya Nukiriya okubikendeezaako, endaagaano ku butunde bw’ensi n’ebirala.

Bino, Trump yeerayiridde okubisazaamu kubanga bifeebezza nnyo Amerika naddala ekifo kyayo ng’ensi esinga amaanyi mu nsi yonna, Vladimir Putin owa Russia n’atuuka n’okugikinako.

ABAGWIIRA BUBAKEEREDDE

Mu kampeyini ze zonna, Trump azze akyogera lenye nti olulinnya mu ntebe, abagwiira abasoba mu bukadde 11 abali mu Amerika mu bukyamu banoonye we bayita. Abagwira, Trump be yeeweredde okutikka abagobe mu Amerika, abasinga bava mu mawanga aga South Amerika, ne Afrika nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kubeera mu Amerika kubanga baayingirayo mu bukyamu nga banoonya emirimu.

Ab’ekibiina kya Republican abasinga obungi bawagira enteekateeka za Trump okugoba abagwiIra mu Amerika obuwanguzi aba Repulezidenti bwe baafunye mu Palamenti za Amerika zombi bulaga nti ebintu si birungi eri Abagwiira. Eno y’ensonga lwaki abantu abalina omusaayi gw’Abafrika, Latino, Hispanics n’abalala tebaamuwadde kalulu.

EKISENGE WAKATI WA AMERIKA NE MEXICO

Trump azze akyogera lunye nti tagenda kukkiriza ba Mexico kusala nsalo okuyingira Amerika era yasuubizza okuzimba bbugwe ku nsalo ya Amerika ne Mexico.

Trump agamba nti aba Mexico bakwasi b’abakazi era banywi ba njaga. Okumanya Trump ajooga, yategeeza nti ekisenge ekyo, aba Mexico be bagenda okukisasulira

ABASIRAAMU BASATTIRA

Bwe yali yaakalangira nti agenda kwesimbawo ku bwapulezidenti mu June 2015, Trump yawuniikiriza ensi bwe yategeeza nti ng’afuuse Pulezidenti, agenda kuyisa ekiragiro ekiwera Abasiraamu okulinnya ekigere mu Amerika.

Trump teyakoma ku kuwera okugaana Abasiraamu okuyingira mu Amerika wabula yategeeza nti n’Abasiraamu abasangiddwa mu Amerika, agenda kubassaako etteeka nga tewali akkirizibwa kuva mu ssaza limu kudda mu ssaza ddala okuggyako ng’asoose okufuna olukusa okuva mu b’amateeka .

Amerika erimu Abasiraamu obukadde busatu n’ekitundu.

CLINTON YANDISIBWA:

Mu ‘Dibeeti’ yaabwe eyasembyeyo ne Clinton, Trump yategeeza nti olutuuka mu White House, agenda kulagira Minisita we ow’ebyamateeka , okulonda abakugu okukola okunoonyereza ku Hillary Clinton ku mivuyo gye yakola bwe yali Minisita wa Amerika ow’ensonga Ezebweru.

Trump azze akyogera lunye nti Clinton mumenyi w’amateeka asaana kubeera mu kkomera.

CHINA ENNEERINDE- TRUMP

Ekimu ku bigenda okujjukirwa ku bukulembeze bwa Obama, kwe kunnyulula Amerika okuva mu katuubagiro ak’ebyenfuna n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu.

Obama, alina endagaano ez’ebyobusuubuzi z’akoze n’amawanga agebweru omuli China mu kaweefube w’okusitula ebyenfuna bya Amerika wabula Trump agamba nti endagaano ezo ziyambye China so ssi Amerika era egenda kuzisazaamu. Agamba nti China erina okusasula Amerika olw’okukola bizinensi zaayo mu Amerika.

ENTALO ZIJJA?

Waliwo okutya mu bantu nti Trump agenda kuwakula entalo mu bukulembeze bwe kubanga eyo y’enkola ya Bannakibiina kya Republican okulwanalwana entalo.

Trump azze asuubiza nti alina enteekateeka ey’okumalawo olutalo lw’omu Syria ng’ayita mu kukolagana ne Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin okusesebbula abatujju b’ekibinja kya Islamic State.

Ku lulwayisa ba Islamic State, Trump ayinza okugaziya olutalo n’atuuka ne mu Iran egambibwa nti y’emu ku nsi eziwagira abatujju.

Okulondebwa kwa Trump era kutadde mu kattu omukago gwa NATO, Amerika mw’eyita okukolagana n’amawanga ag’omu Bulaaya okulwana entalo n’okukuuma obutebenkevu mu nsi wabula Trump agamba nti aba NATO banyunyunta Abamerika , n’awera nti ensi ezimu eziri mu NATO, Amerika tejja kuziyamba ssinga zinaalumbibwa.

EBY’OKULWANIRIRA OBUTONDE TRUMP SI BY’ALIKO

Trump azze agamba nti ng’afuuse Pulezidenti wa Amerika, agenda kusazaamu pulogulaamu zonna eza gavumenti okussa ensimbi mu by’obutonde n’agamba nti ebyogerwa nti enkyukakyuka ey’obudde erina obulabe , ebyo biboozi bya China.

DOOLA EGUDDE

Obuwanguzi bwa Nnaggagga Donald John Trump obw’ebyewuunyo buyuguumizza ensi. Ebbeeyi y’ensimbi ez’amawanga amenene n’emigabo mu butale obw’ensimbi bigudde, akabonero akalaga nti ensi erina okwekengera okw’amaanyi olw’okulondwa kwa Trump.

Trump, 70 omu ku basajja abasinga obugagga mu Amerika yawangudde akalulu ka Amerika ak’ebyafaayo bwe yamezze Hillary Rodham Clinton 69, ensi yonna gwe yabadde esuubira okuwangula. Kigambibwa nti Muky.

Clinton yayozezza ku mmunye ebintu bwe byefudde. Pulezidenti Barack Obama ne mukyala we Michelle Obama abakoze buli ekisoboka okunoonyeza Clinton akalulu bagambibwa okuba nga banyiivu olw’omusajja gwe babadde bayita ekinene kya wanga okuwangula akalulu.

Trump yawangudde akalulu mu ngeri eyeewunyisizza n’abeekibiina kye ekya Republican abamu abaali baamuvaamu.

Yakuηηaanyizza obululu obusukka mu bukadde 58 songa Clinton yafunye obululu obusoba mu bukadde 57.

Wadde okuvuganya wakati wa Trump ne Clinton kwabadde kwa maanyi bw’ogeraageranya obululu obukadde 58 bwe yafunye ku bwa Clinton obukadde 57, Trump yakubidde wala nnyo Clinton mu bululu obwa Electoral Votes, obusalawo ani awangula obwa Pulezidenti wa Amerika.

Ku bululu 538 obwa Electoral Votes, Trump yakukumbyeeko 289, Clinton n’afuna 218. Omuntu yenna okuwangula obwa Pulezidenti, ateekwa okufuna obululu 270 okudda waggulu. Trump okumegga Clinton, kyaddiridde obuwanguzi obw’amaanyi bwe yafunye mu masaza ag’enkizo munaana; Florida, Iowa, Michigan, , New Hampshire, North Carolina, Ohio, Pennsylvania, ne Wisconsin ge yagasse ku masaza agamanyiddwa nti ga Bannakibiina kya Republican.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...