TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baddereeva ba bbaasi balaajanidde Gavt. 'Mutufunire balooya

Baddereeva ba bbaasi balaajanidde Gavt. 'Mutufunire balooya

Added 10th November 2016

“Ebbaluwa ezitukakasa ku mirimu baziwandiika mu Lungereza, nga bazitaddemu obuwaayiro bungi obumu nga buli mu lulimi lw’amateeka ebintu bye tutasobola kutegeera kuba bangi ku ffe tetwasoma kugenda wala.

 Abamu ku baddereeva abeetabye mu lukiiko.

Abamu ku baddereeva abeetabye mu lukiiko.

Bya Samuel Balagadde

BADDEREEVA ba bbaasi battottodde engeri bakama baabwe gye babakozesa endagaano ezirimu obukwakkulizo obutabaganya kwetaaya kyokka nga babasasula omusaala ogutasobola kubayimirizaawo.

Bagamba nti, oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka ebisaabaza abantu mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) okubassaako obukwakkulizo bw’okubawa amabaluwa agabakakasa ku mirimu, bangi kino bakikola mu ngeri ya kweggyako.

“Ebbaluwa ezitukakasa ku mirimu baziwandiika mu Lungereza, nga bazitaddemu obuwaayiro bungi obumu nga buli mu lulimi lw’amateeka ebintu bye tutasobola kutegeera kuba bangi ku ffe tetwasoma kugenda wala.

Weesanga ng’omuntu atadde omukono ku ndagaano nga tamanyi na bbanga ly’alina kumala mu kkampuni’, omu ku baddereeva ataayagadde kwatuukiriza mannya bwe yagambye.

Baddereeva okwemulugunya kuno baakukoleddea mu lukiiko olwatudde e Kyambogo mu Kampala ku Mmande nga lwategekedddwa ekitongole kya TLB n’ekigendererwa ky’okulwanyisa obubenje ku nguudo.

Lwetabiddwaamu poliisi y’ebidduka, aba yinsuwa za mmotoka ssaako ekitongole ky’omusolo ekya URA.

Winstone Katushabe, omuwandiisi wa TLB yalabudde baddereeva naddala abavuga bbaasi eziva n’okudda mu mawanga ag’omuliraano nti balina kubeera babiri mu bbaasi nga bavuga mu mpalo wabula kino tekigobererwa ekivaako okukoowa n’okwebakira ku siteringi n’ekiddirira kukola bubenje.

Ebizibu bya baddereeva

  1. Basasulwa omusaala mutono okusinziira ku mulimu gwe bakola omuli okuvuga bbaasi okuva ku makya okutuuka akawungeezi.
  2. Bannannyini bbaasi tebabawa budde bumala kuwummula ekibaviirako okwebakira mu kkubo. 
  3.  Aba tulafiki ku nguudo babayisaamu amaaso n’okubakwatira ensonga ezitaliimu. l Obutasiimibwa bakozesa naddala abo abavugidde bbaasi ekiseera ekiwanvu ne watabaawo kibaweebwa ng’akasiimo. 
  4. Okubaggyako bbaagi ezibakkiriza okuvuga bbaasi nga tebasoose kubawuliriza ssinga bbaasi eba ekoze akabenje.
  5. Baddereeva ba bbaasi baagala ebibiina ebibagatta omuli ekya United Bus Drivers Association (UBDA) n’ekya Uganda Bus drivers and Allied Association (UBDAA) n’ebirala bigattibwe muveemu ekibiina kimu mwe basobola okuyisa eddoboozi eryawamu.

Yunus Kiggundu, ssentebe w’ekibiina kya UBDA yagambye nti, gavumenti okutandika okuwuliriza ensonga za baddereeva kigenda kwongera okukendeeza obubenje ku nguudo kuba ebimu ku bivaako obubenje bigenda kugonjoolwa.

“Ddereeva tasobola kuvuga bulungi bbaasi ng’ali mu birowoozo olw’ebizibu by’aba alese awaka okugeza ng’abaana be babagobye fiizi, obutalekaayo mmere n’ebirala. Kyokka ono afuna emitwalo 15 y’ali mu kuvuga bbaasi ey’obukadde 300!’

Ebikwata ku bbaasi mu ggwanga

Okusinziira ku kitongole kya TLB:

1 Bbaasi 1,000 ze zirina layisinsi.

2 Zikolera wano mu Uganda n’amawanga ag’omuliraano okuli Kenya, Uganda, Tanzania , DR Congo, South Sudan, Rwanda ne Burundi.

3 Baddereeva ba bbaasi abakkirizibwa mu mateeka basoba mu 1500.

Baddereeva bye baagala gavumenti ebakolere

  • Minisitule y’emirimu wamu n’ekitongole kya TLB basseewo ekkomo ku misaala egirina okutandikirwako mu kusasula baddeereeva.
  • Oluvannyuma lw’okukola akabenje, poliisi esooke kukola kunoonyereza okumala ku kiki kwe kaavudde nga tennaggya bbaagi ku ddereeva, kuba olumu abakozesa oluguudo abalala be baba mu nsobi.
  • Okufuna okutendekebwa ku bikwata ku nguudo okuva mu bakugu mu gavumenti, buli luvannyuma lw’ekiseera ekigere.
  • Okwanguyizibwa okuweebwa ebbaluwa ezibakakasa ku mirimu ssaako n’ezo ezibakkiriza okuguvaako.
  • TLB okubafunira bannamateeka okusooka okutunula mu ndagaano zaabwe nga tebannazissaako mikono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...