TOP

Kuva dda nga Trump wa mbazuulu

Added 11th November 2016

Trump agamba nti famire mw’ava bakagezimunnyu wadde abantu abalala babayisaamu amaaso.

 Famire ya Trump okuli abaana be n’omuzzukulu.

Famire ya Trump okuli abaana be n’omuzzukulu.

Bya MUSASI WAFFE

OMUSAJJA eyeewunyisizza ensi yonna ng’atutte entebe y’omukulembeze asinga amaanyi mu nsi, Donald John Trump yava dda ng’akola byewuunyisa.

Okuva leero Bukedde agenda kukutusaako emboozi y’olugendo lw’obulamu bwe okuva lwe yazaalibwa mu June nga 14, 1946 ku kyalo Jamaica Estates mu kibuga New York mu Amerika okutuusa lw’afuuse Pulezidenti wa Amerika owa 45.

Okusoma KWA TRUM P: Yafuna diguli y’ebyenfuna mu ttendekero lya Wharton School of Economics mu ssaza ly’e Pennsylvania mu 1968. Okusoma ebyenfuna, kitaawe, omugenzi Fred Trump yakikola mu bugenderevu kubanga Trump yamulaba ng’ebya bizinensi abirinamu ekitone okusinga abaana be abalala.

Trump ku myaka 14 ng’ayingidde mu ttendekero ly’amagye.

 

Trump ye mwana owokuna ku baana bataano. Ababiri baafa abasatu balamu okuli Maryanne, Elizabeth ne Robert era bano Trump yabanjudde bwe yabadde ayogera eri abawagizi be nga yaakawangula akalulu mu kibuga New York ku Lwokubiri ekiro.

Mugandawe omukulu, Fred Jr. yafa omwenge mu 1981 era Trump agamba nti kye kyamugaana okunywa omwenge ne sigala.

Mu 1971, Trump yasikira kitaawe n’okutwala emirimu gye mu maaso era wano obugagga bwa kitaawe bwe yasikira bwali bwa doola obukadde 200. Kitaawe yali kayungirizi wa ttaka n’amayumba kwe yassa ne kkampuni enzimbi.

Fred yali mugezigezi nga mutabaniwe kubanga yatandika kkampuni ezimba ng’eddaabiriza n’amayumba amakadde ge yagulanga n’egazza buggya n’agatunda obuwanana n’ayoola omudidi gw’ensimbi.

Trump alimu omusaayi Omugirimaani; Wadde bakimussaako nti, musosoze olw’ebigambo by’ayogera kitaawe yali mugwira eyava e Girimaani ate nnyina Mary Trump yava Scotland era obujjajjaabwe n’obukojja bwonna buli ku lukalu lwa bulaaya. Kitaawe yazaalibwa mu 1905 n’afa 1999 ate maamawe, Mary yazaalibwa ku kyalo in Tong, Lewis, Scotland mu 1912 n’afa mu 2000.

Ennyumba Trump mwe yakulira yazimbibwa mu 1865.

 

Bombiriri baasisinkana New York ne bagattibwa mu 1936. Kuva dda ng’alina effujjo Trump kuva dda nga wa ffujjo ateeguya musenzi. Ku myaka 13 gyokka yeewaggula okuva mu ssomero kitaawe n’amutwala mu ttendekero ly’eby’ekijaasi erya New York Military Academy mu 1964.

Trump yasooka kusomera mu kasomero The Kew-Forest School akaliraanye amaka gaabwe agaazimbibwa mu 1865 ng’emzimba yaago eyitibwa Tudor mu Jamaica Estates. Yadduka mu ssomero lino olw’emize egiwerako n’obutawa bayizi banne kitiibwa n’atwalibwa mu ttendekeri ly’ebyekijaasi.

Eyo gye yamalira guleedi ey’omunaana ne haaya. Mu 1983 nga kitaawe tannafa, yayogera emu ku nsonga lwaki mutabaniwe yali muzibuzibu n’agamba nti, ‘omwana oyo yali muzibuzibu naddala okulwanalwana ne banne kuviira ddala nga kakyali kato.’

We yatuukira mu siniya, Trump yali yafuna omutima gw’amagye era olumu mu kibuga New York, waaliyo okukumba ku ssomero n’ayambala ebyambalo by’amagye n’assaako n’emiyondo ne yeegatta ku banne. Mu 2015, waliwo omuwandiisi eyali amuwandiikako n’amutegeeza nti, okutendekebwa kwe yafuna mu ttendekero ly’amagye kusinga n’abajaasi abakuba emmundu.

Era okutendekebwa kuno Trump akwenyumirizaamu nnyo nti kulina kye kwayongera ku bulamubwe.

Yagenda mu yunivasite ya Fordham e Bronx ekiriraanye New York n’amalayo emyaka ebiri gye yava okugenda mu Wharton gye yakugukira mu byenfuna n’obusuubuzi. Ettendekero lya Wharton gye yasomera mu ssaza ly’e Pennyslvania ly’erimu ku masaza agasinga okuba n’ebyenjigiriza ebirungi mu ggwanga eryo.

AWONA OKUGENDA E VIETNAM

Luno olutalo lwaliwo wakati wa 1955 - 1975 nga lwafiiramu abajaasi ba Amerika 58,220 ate Abavietnam bonna omugatte okuli abayeekera gavumenti ya Amerika be yali eyamba abayitibwa Viet Cong n’aba gavumenti be yali eyagala okumaamulako ssaako n’abantu baabulijjo babalirirwa okuba 1,100,000.

Trump ng’ali mu yunivasite y’e Fordham University e Bronx yassibwa ku lukalala lw’abalina okugenda mu lutalo mu 1964. Mu 1966 yakeberebwa n’okutwalibwa mu dduyiro kyokka abasawo ne bakizuula nga tamalaako.

Mu 1968 baddamu ne bamuzza ku lukalala lw’okugenda mu lutalo ate mu October 1968 baamutwala mu dduyiro era nga tamalaako.

Mu 1969 Trump yalwalalwala n’anafuwa nnyo ne kimuyamba okumuggyira ddala ku bavubuka abalina okugenda okutabaala e Vietnam. Olwo yasalawo atandike okukola era yatandikira mu kkampuni ya famire eyitibwa Elizabeth Trump & Sons ng’eno yabbulwa mu jjaajjawe azaala kitaawe.

Ekifaananyi Melania kye yeekubya ng’ali bute. Yali tannafumbirwa Trump.

 

ERINNYA TRUMP GYE LIVA

Erinnya lya famire yaabwe lyasooka kuba Drumpf nga lya Lugirimaani. Lyagenda likyuka okuva ku ngeri abantu gye baalyatulanga okutuuka lwe lyafuuka Trump nga bajjajjaabe batuuse ku lukalu lwa Bulaaya n’oluvannyuma kitaawe n’asengukira mu Amerika gy’azaalidde Trump ne baganda be.

Trump agamba nti famire mw’ava bakagezimunnyu wadde abantu abalala babayisaamu amaaso.

Agamba nti, omu ku bakitaawe, John G. Trump eyali polofeesa mu ttendekero lya tekinologiya erya Massachusetts Institute of Technology okuva mu 1936 okutuuka 1973 y’omu ku baayambanga amagye g’omukago okulagirira ennyonyi zaabwe ng’asinziira ku mirongooti egy’enjawulo nga ssematalo owookubiri ayinda.

John G Trump y’omu ku baakola ekyuma kya x-ray mu biseera ebyo ekiyamba okutta obutaffaali obuleeta kookolo.

Kitaawe ono era yalagirwa ekitongole kya FBI ekikettera munda mu Amerika okukebera empapula n’ebyuma bya kakensa Nikola Tesla eyayiiya n’okukyusakyusa engeri amasannyalaze gye gatambulamu, leediyo, amasimu, amaato agavugirwa ku mirongooti n’ebintu ebirala bingi eyafa mu 1943 okukakasa nti, tebirina bulabe bwonna ku Amerika kubanga obwongo bw’omusajja ono bwali bukola nnyo nga toyinza kumala gatandika kukwata ku bintu bye nga tosoose kufuna kafulu mulala kubakakasa nti tebirina bulabe.

Kino Trump akyenyumirizaamu nnyo okuba nga kitaawe naye yali mugezi. “Omusaayi gwaffe gulimu obusigo obutegeera okusinga obw’abalala.’ Bw’atyo bw’atera okwogera ng’ali mu mikwano gye.

(Mu kitundu kyaffe ekiddako, tugenda kukuleetera obulamu bwa Trump ng’atandise okukola, tulabe engeri gye yanooonyamu ensimbi n’afuuka omugagga ffugge)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...