TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omugagga gye yasse omuntu eyakalabudde ku mmotoka ye

Engeri omugagga gye yasse omuntu eyakalabudde ku mmotoka ye

Added 14th November 2016

Engeri omugagga gye yasse omuntu eyakalabudde ku mmotoka ye

OMUVUBUKA yaggye ssente ku ATM e Lugogo n’asimbula emmotoka okuva mu paakingi. Yabadde adda emabega n’akolobola emmotoka eyabadde emuliraanye. Nnyini mmotoka yafulumye ne bakaayana ekyaddiridde kuggyayo pisito n’akuba omuvubuka amasasi.

Kino kiguddewo mu kwemulugunya olw’abantu abeeyongedde okutambula n’emmundu mu mmotoka. N’abalala abassa emiggo mu mmotoka gye bakozesa okukuba aba bodaboda n’abalala be balowooza nti bavuga bubi. Ku Lwomukaaga, Kenneth Watmon Akena 32, yavudde ku mupiira gwa Cranes ne Congo e Namboole n’asibira ku Forest Mall e Lugogo okuggyayo ssente ku ATM.

Yabadde akolaganye ne banne basisinkane ku Kyadondo Rugby Ground okulya obulamu. Ng’amaze okuggya ssente ku ATM, Kenneth yakoleezezza emmotoka okugiggya mu paakingi, kyokka yabadde adda emabega n’akolobola ku mmotoka endala ekika kya Landcruiser.

Kenneth yafulumye mu mmotoka n’agenda ku luggi lw’endala gye yatomedde. Nnannyini mmotoka eyategeerekese nga Matthew Kanyamunyu teyamuganyizza kwetonda. N’amuboggolera nga bw’amuvuma obutaba na magezi.

Mu kaseera katono nnyo, Kanyamunyu eyabadde n’omukazi Cynthia Munwangari yaggyeeyo pisito n’akuba Kenneth amasasi mu lubuto. Kanyamunyu ye nnannyini kkampuni etambuza ebintu eyitibwa ‘Quantum Express Logistics’. Kenneth yagudde wansi n’alaajana. Kyokka omugagga emmundu yagimuteeredde ddala ku lubuto, amasasi ne gatavuga era abaserikale abakuuma ekifo ekyo tekuli yawulidde.

Muganda wa Kenneth ayitibwa John Paul Nyeko abeera e Kyaliwajjala mu Kira gwe yabadde agenda okusisinkana ku Rugby Club yakubidde Kenneth essimu emirundi ena nga tagikwata. Nyeko bwe yatuuse ku Rugby Club nga talaba Kenneth kwe kumulondoola ku Forest Mall gye yatuuse n’alaba emmotoka ya Kenneth.

Yagenze ku mmotoka n’asanga nga Kenneth agudde wansi alaajana n’amugamba “Papa, they have shot me” ekitegeeza nti bankubye amasasi. Omugagga naye yayambyeko okusitula Kenneth okumussa mu mmotoka ye (Corona), Nyeko n’agivuga okugenda e Nakasero Hospital kyokka baasanze obusenge bujjudde.

Abasawo baabayambye okukuba amasimu ku malwaliro ag’enjawulo gye basobola okumutwala kubanga yabadde avaamu omusaayi mungi. Baamututte ku Norvik erisangibwa ku Bombo Road mu binyira. Baamutaddeko eccupa z’omusaayi kyokka n’afa nga bukya eggulo. Omugenzi Akena ye Community District Offi cer e Kasese mu kitongole ekiyamba abaana ekya ACODEV. Kyokka ng’alina emirimu emirala e Amuru mu Pader.

W’afi iridde ng’ategeka mbaga ye. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza Bukedde nti baakutte Kanyamunyu ne Cynthia Munwangari gwe yabadde naye mu mmotoka.

Yagambye nti abaakwatiddwa beegaanyi okukuba Akena amasasi. Emmundu eyamukubye nayo tennazuuka. Kigambibwa nti Kanyamunyu yategeezezza bw’alina abantu abamulinnya akagere b’agamba nti balabika be baamukubye amasasi nga balowooza basse ye Kanyamunyu.

Kyokka poliisi yagambye nti ekyo tekyandisobose kumukuba mu lubuto, bandibadde bamukubye mugongo oba ku mutwe. Omulambo gwatwaliddwa e Mulago gye gugenda okuggyibwa okugutwala e Kigtum.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.