TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukodyo 5 omuzadde bw'okozesa okuyigiriza omwana obutayonoona ssente

Obukodyo 5 omuzadde bw'okozesa okuyigiriza omwana obutayonoona ssente

Added 14th November 2016

Obukodyo 5 omuzadde bw’okozesa okuyigiriza omwana obutayonoona ssente

 Omuzadde ng’ayigiriza omwana ssente.

Omuzadde ng’ayigiriza omwana ssente.

AWAKA ly’essomero erisooka, anti buli kintu omuntu ky’akola abamutunuulira bamulamula beesigama ku maka gy’ava n’engeri gye yakuzibwamu. kale abazadde balina okwegendereza n’okuteekamu amaanyi mu nkuza y’omwana ennungi.

Emu ku mpisa omwana gy’ayigira awaka ku muzadde , mwe muli empisa y’enkwata ya ssente omuba okwejalabya, okukekkereza n’okutereka Haji Jamil Ssebalu, omukugu mu byenfuna agamba; Ebyenfuna ebigaggawaza omuntu bifugibwa ebintu bibiri; empisa n’obwesigwa.

ate bino omuntu abiyigira waka ku bazadde, engeri omwana gy’akolamu ebintu ebirala ekulaga engeri gyaneeyisaamu mu nkwata ya ssente. Engeri gy’otendekamu omwana ebintu ebirala ng’obukkakkamu, obugumiikiriza, okutereka, okukekkereza, bimuyamba okuyiga enkwata ya ssente ennungi, era empisa zino abeera ajja kuziteeka mu nkwata ya ssente, agende mu maaaso agaggawale oba ayavuwale.

Okutereka kuyinza okutandikira ku mmere, omwana bw’alya emmere n’alekawo, omuzadde atera okumulagira okugibikkako obulungi agitereke anaagirya edda. Mu kino amuyigiriza obutayonoona mmere. ate era akaseera bwe kayitawo omwana ono emmere eri gye yaterese, enjala bw’emuluma emuyamba kuba agirya n’atereera. empisa eno agitwala ne mu ssente nti bwe nkozesa ssente nterekako oba ndekawo ezinnyamba mu buzibu obulala. Omuntu bw’ayiga okutereka emmere, ne ssente asobola okuyiga okuzitereka. bwe kituuka ku kukuula amannyo, omuzadde akubiriza omwana okukuula erinnyo eribeera liruma.

Bwe livaamu aliwa emmese n’emuwa ssente, mu kino amwagazisa okukuula amannyo amalala, ayongere okufuna ssente. Omwana agumira obulumi bw’erinnyo n’alikuula ng’amanyi nti emmese egenda kumuwa ssente era ategeera nti okufuna ssente si kwa muzannyo, mulimu okutuuyaana n’okwerumya, ebyo byonna bitendekerwa waka.

Ate emmese bw’emala okumuwa ssente, era omuzadde amukubiriza nti ssente ezo togulaamu zonna sswiiti, osobola okuterekako n’olyako enkeera ku ssomero oba n’ogulako ekkalaamu gy’otolina. eyo yonna mpisa ya kukwatamu ssente ng’agiyigira waka, n’endya yennyini omuntu gy’alyamu nayo ekola kinene okuyigiriza omuntu enkwata ya ssente. Si kirungi kussa mmere nnyingi ku ssowaani n’olya lumu n’obwegera, ate enkya nga tolina ky’onoolya.

Omuzadde akubiriza omwana okulya obulungi, obutapapa ng’alya, bino byonna era abikozesa ne mu nkwata ya ssente.

Abazadde abamu bwe bawa abaana emmere eriko ennyama, amugaana okusooka okulya ennyama, n’amulagira asooke kulya mmere endala yonna asembyeyo ennyama. Kino mu ssente mwekiri nti, yiga okutereka wadde ekintu ekyo okyagala nnyo naye kitereke ate kijja kuba n’omugaso ogusingako edda.

Kale abazadde balina omulimu munene mu buli kintu omuntu ky’abeera mu nsi, kuba buli kimu, buli mpisa n’entegeera y’ebintu, omwana agiggya era agikoppa waka ku bakadde engeri gye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...