
Omu ku balimi ng'alaga endokwa z'emmwaanyi ezimuweereddwa
Bya Maria Nakyeyune
ABANTU ba Sssabasajja mu Ssaza ly'e Mawogola abaakosebwa ekyeya bafunye essuubi olwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima n'abadduukirira n'endokwa z'emmwaanyi basobole okweggya mu bwavu.
Endokwa 228000 ze zigabiddwa okwetoloola essaza lino ng'abantu abasoba mu 300 bafunye endokwa 200 buly'omu era ne bafuna akemwenyumwenyu ku matama olwensonga nti abasinga emmwaanyi zaabwe zaali ziweddewo olw'omusana.
Bw'abadde abakwasa endokwa zino ku mbuga y'essaza lino, Omwami w'essaza ly'e Mawogola Felix Nsamba Kabajjo asabye abantu okuzifukirira n'okuzirabirira ng'agenda kuzirambula buli kadde obutaswaza Ssaabasajja.Kabajjo asabye Ssaabasajja okulangirira essaza lino ng'erisinze okulima obulunji emmwaanyi era libeere ekyokulabirako eri amasaza gonna amalala gafube okwenyigira mu bulimi bw'emmwaanyi.