
OMUKAZI eyabadde n’omugagga agambibwa okukuba omuvubuka amasasi e Lugogo attottodde bye yalabye ng’obutemu buno bukolebwa.
Mu sitetimenti Cynthia Munwangari gye yakoze ku poliisi ya Jinja Road, yasoose kulambika engeri gye yamalamu olunaku ne muganzi we Mathew Kanyamunyu okutuusa ku ssaawa Kenneth Akena we baamukubira amasasi e Lugogo okuliraana Game. Yagambye nti ekyemisana baakirya kikeerezi ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi era baakiriira ku Epiquirine Restaurant e Kololo mu Kampala.
Bwe baamala okulya ekyemisana, Cynthia ne Kanyamunyu baasalawo okudda e Luzira omuwala gye yali asula wabula baba bagenda, Kanyamunyu n’afuna essimu okuva ew'omuntu gw'akolagana naye mu bizinensi. Cynthia yagamba Kanyamunyu bakyuse ebifo olwo omuwala n’adda ku ‘siteeringi’ kubanga omusajja yali ku ssimu ate ng’ebyogerwa bitutte akaseera kawanvu.
Cynthia yasimbula emmotoka n'avuga ng’ayita ku kisaawe e Kololo okukkirira ku nkulungo ya Kati Kati okugatta ku Lugogo Bypass badde ku Jinja Road boolekere Luzira. Mu kiseera ekyo obudde bwali bukunidde. Cynthia agamba nti bwe yatuuka emmotoka we ziwetera okudda e Kampala (mu maaso ga Kyadondo Rugby Club), mmotoka eya langi eya bbulu omukwafu entono nnamba UAU 725G n'ebatomera ku bbampa y'emmotoka yaabwe ekika kya Toyota Prado TX nnamba UAW 548N.
Emmotoka eyabakoona ng’ebava mu mbiriizi yabayitako n’eyimirira mu mmita nga ttaano mu maaso. Agamba nti yalaba omusajja ng’ava mu mmotoka eyabatomera era yatambula adda ku ludda olutali lwa ddereeva.
Kanyamunyu eyali yaakava ku ssimu nti naye yaggula oluggi n’atandika okwogera n’omuvubuka ku kibaddewo. Cynthia nti yali tannava mu mmotoka, yawulira ekibwatuka era amangu ago n’alaba omuvubuka ng’agwa ku ttaka nga bw’alaajana.
Mu kaseera ako Kanyamunyu yayingira emmotoka kyokka Cynthia bwe yamubuuza ekituuseewo n’amugamba nti kirabika abantu ababalondoola be bakubye omuvubuka essasi. Ebya Kanyamunyu bikyukamu Mu sitetimenti ya Kanyamunyu, agamba nti abasajja abaava mu mmotoka baali babiri era alambulula nti
: "Nnalaba abasajja babiri nga bava mu mmotoka ne batambula nga bajja awali eyaffe ne batuukira ku luggi lw'omusaabaze ne balukikiitanya lweggule era oluvannyuma ne lweggula ne nfuluma ne tutandika okukaayana." Nti yawulira essasi ly’atamanyi gye lyava era mu kutya okungi, n’adda mu mmotoka ng’alaba essasi likubye omuvubuka agudde ku ttaka alaajana.
Kanyamunyu yagasseeko nti: "Wakati ng’omuvubuka alaajana, munne gwe yali avudde naye mu mmotoka yadduka n'abulawo era nange ne ntya ne nzira mu mmotoka yange wabula ng'omusajja ali wansi aboyaana ne tusooka tubikubyamu ne Cynthia kubanga twali tetuyinza kumuleka afe." Nti beewuunaganya oba bakubire poliisi ya Jinja Road oba Kira Road essimu naye ne basooka basalawo okumutwala mu ddwaaliro lya Victoria Medical Center e Kamwokya okuliraana ekitebe kya Bungereza mu Uganda wabula ne babagamba nti yeetaaga kwongerwayo kwe kumutwala mu ddwaaliro e Nakasero wabula ng'obusenge bwali bujjudde.
Kanyamunyu agamba nti, abasawo e Nakasero baamuteeka ku nninga annyonnyole n'ababuulira ebyali bibaddewo era waayita eddakiika ttaano zokka nga baakatuuka e Nakasero n'aba famire ya Akena ne batuuka. Abasawo baasalawo Akena okumwongerayo ku Norvik awaali ekifo ky'abali obubi ekyali tekijjudde era eno poliisi y'e Wandegeya gye yakwatira Kanyamunyu ne Cynthia oluvannyuma ne batwalibwa ku poliisi ya Jinja Road wabula nga bbo bagamba nti baali bayamba buyambi muntu.
Era ku Norvik ng’atandise okujjanjabwa, Akena we yaddiramu ku maanyi n'ategeeza muganda we John Nyeko nti omusajja eyali amututte mu ddwaaliro (Kanyamunyu) ye yali amukubye amasasi mu lubuto. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi yagambye nti ebigambo omugenzi bye yayogedde ng’afa baakubikozesa ng’obujulizi kubanga bya mugaso nnyo mu kunoonyereza okugenda mu maaso.
AB OOLUGAN DA LWa ake na BA KAAY E Nga beegattiddwaako abakulembeze okuva mu Acholi, abooluganda lwa Akena baalaalise nti tebagenda kuweera okutuusa ng’amazima gavuddeyo. Akena yaziikiddwa eggulo e Kitgum era abakulembeze mu Acholi ne basalawo okusisinkana abapoliisi abali mu musango guno ku poliisi ya Jinja road olwaleero babayitiremu obulumi bwe balimu, n’okukakasa nti omusango gukwatibwa bulungi.
Omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura yasisinkanye aba famire ya Akena ng'okuziika kuwedde mu disitulikiti y'e Kitgum n'abasuubiza okugoberera omusango guno okukakasa nti gukwatibwa mu mazima n’obwenkanya. KANYAMUNYU MU SAJJA WA FAMI RE Eggulo, twatuuseeko mu maka ga Kanyamunyu g'abadde apangisa e Butabika mu 'The Royal Palms Estate' okuliraana essomero lya Gems Cambridge International School.
Omuntu omu ataayagadde kumwatuukiriza mannya mu 'The Royal Palms' Kanyamunyu mw'asula yagambye nti, Kanyamunyu musajja mufumbo alina omukyala n'abaana basatu abasomera ku Gems Cambridge, Kyokka yagasseeko nti, bulijjo bamulaba era abayitako naye endabirwamu za mmotoka ye zibeera nseese nga zikoonye waggulu era tatera kubaako muntu yenna gw’anyega.
KANYAMUNYU Y'ANI :
l Yasomera mu Kings College Budo ne Ntare School e Mbarara. l Emirimu gye yagitandikira mu kkampuni ya TNT ng'ayambibwako Winnie Byanyima agambibwa okubeera kizibwe we era ye yamusemba okufunayo omulimu.
l Eyo gye yava okwegatta ku kkampuni ya Fedex ne DHL zonna ezitambuza ebitereke n'oluvannyuma n’akola kkampuni eyiye eya Quantum Express Logistics nayo etambuza ebitereke mw’ayise okugaggawala.