TOP

Endwadde eziva ku kaabuyonjo ezituulwako

Added 18th November 2016

Endwadde eziva ku kaabuyonjo ezituulwako

 Ono yasangiddwa ng’ayonja kaabuyonjo ey’olukale.

Ono yasangiddwa ng’ayonja kaabuyonjo ey’olukale.

Mu Katanga bali abantu 23,000 wabula bakozesa kaabuyonjo musanvu zokka. nate nga ku zino kuliko ez’olukale nnya n’ez’obwannannyini ssatu z’osasulira. Amyuka ssentebe w’ekyalo Katanga, Sarah Nsangi agamba nti, kaabuyonjo kikyali kizibu mu kitundu kino.

Annyonnyola nti, abantu abamu bazikozesa bubi ekivaako okusaasaanya endwadde ng’ate eby’obujjanjabi byafuuka bizibu okuva bwe baatandika okuddaabiriza eddwaaliro ly’e Mulago. Fred Mwesige, ssentebe wa Namuwongo Yoka Zooni agamba nti mu kitundu mulimu abantu 2,700 wabula balina kaabuyonjo 5 zokka ez’olukale nga tezimala kuba ate bazaala buli lunaku.

Mu zooni ya Namuwongo A mulimu kaabuyonjo bbiri ez’olukale ate ng’abantu bangi, ate ziriraanye akatale ng’abantu bwe bajja okukola ku Lwokubiri kifuuka ekizibu. Namuwongo B balina kaabuyonjo nnya ez’olukale, ate Kanyogoga balinamu kaabuyonjo ssatu.

Ate mu Kampala ng’ekibuga ky’eggwanga ekikulu nakyo mukyalimu ebitundu ebimu awakyali ekizibu kya kaabuyonjo. Peter Kawujju, omwogezi wa KCCA agamba nti mu Kampala amaka agasoba mu 90 ku buli 100 gakozesa kaabuyonjo nsime ezitatuukana na mutindo.

Ate amaka 1.8 ku buli 100 bateeberezebwa okuba nga tebalina mwagaanya gukozesa kaabuyonjo. Kyenkana kaabuyonjo 45 ku buli 100 zaalekebwawo emyaka etaano emabega nga zajjula oba nga zaagwamu kuba zaali mu mbeera mbi nga teziddaabirizibwa oba okuyonjebwa. Ekimu ku bitundu mu kibuga ebirina ekizibu kya kaabuyonjo ye Kisenyi.

Mulimu kaabuyono ntono era abantu batawaanyizibwa.Ku buwumbi musanvu obw’abantu abali mu nsi, akawumbi k’abantu kamu bakyafuluma we basanze olw’obutaba na kaabuyonjo. Ebyobulamu ebibi byongedde okuteeka abantu mu katyabaga k’okufuna endwadde naddala mu baana n’abakyala.

Mu Uganda abantu mu bitundu ebitali bimu nabo bakyalina obuzibu bwa kaabuyonjo nga mu bitundu by’obukiikakkono waliwo abatamanyi kaabuyonjo ng’abamu bakitwala ng’omuzizo. ‘Abantu kye bagamba’ Robert Mwesige: Okukozea kaabuyonjo encaafu osobola okufuna endwadde nga kkolera, omusujja gw’omu byenda n’endwadde endala. Okwewala bino bw’oba ogendayo yiwayo amazzi ne bw’oba ofulumye obutaleka bucaafu ku ngulu kuba buno buvaako endwadde ezitali zimu.

Francis Tumusiime: Okukozesa kaabuyonjo enjama kitambuza endwadde nga enziku, kandida n’endala ate ssinga oba okozesezza sabbuuni okuzooza kiyambako okutta obuwuka, okunaaba mu ngalo ng’omaze kikendeeza ku kusaasanya obulwadde. Ate bw’oyiwayo amazzi ng’omaze addako aba tafuna bulwadde. Richard Obilu, Katanga: Kaabuyonjo enjama erwaza endwadde nga kandida kuba mmuwulira nnyo mu kitundu kuba n’abaana abakwata ng’abasawo bagamba kiva ku bujama. Kiba kirungi okuziyonja buli lunaku ku makya n’olweggulo naye oluusi tekisoboka naddala mu kitundu ng’ekyaffe omutali zimala.

kungulu kwe batuula. l Bw’omaliriza ginyumunguze. l Bino byonna bikole ng’okozesa sabbuuni naddala ow’amazzi okutta obuwuka. Genderera okulongoosa buli kintu ekiri ku kaabuyonjo omuli ky’okwata okusumulula amazzi, empiira, ebisenge, ekikuuta ky’okozesa n’ebirala. Okusitama oba okutuula ku kaabuyonjo Abantu abasinga bwe bazimba baagala kaabuyonjo za kutuulako okusinga ez'okusitamako nga balowooza nti wano babeera batambula n'omulembe ne batatunuulira bulabe buyinza kuvaamu.

Dr. Nuwagaba alaga endwadde z’ofuna ku kaabuyonjo y’okutuulako.

1 Olubuto okwesiba kuba bw’otuula tofuluma bulungi ekivaako obucaafu okukwata munda.

2 Ensundo z'emabega, kino kiva ku misuwa mu bitundu ebyo okuzimba nga kyekuusa ku kwesiba kw’olubuto.

3 Endwadde z’ekyenda ekinene, kiva ku muntu butafulumya bucaafu kubumala munda ne bufuuka butwa ekirwaza ekyenda.

4 Endwadde ezirumba enseke omuyita omusulo naddala mu bakyala. Dr. Farouk Muyingo, ow’eddwaaliro ly’e Mpigi alaga obulungi obuli mu kusitama ku kaabuyonjo.

1 Omuntu ayanguyirwa okufuluma n’afulumya obucaafu bwonna ne kikendeeza emikisa gy'okwesiba olubuto, okulwala kookolo w'ekyenda, amayinja mu lubuto n'ebirala. 2 Kikuuma emisuwa oba Lwaki weetaaga kaabuyonjo?

Dr. Ambrose Nuwagaba owa Mulago Hospital, annyonnyola ku nsonga eno. l Kaabuyonjo eyamba eggwanga okukula, okutumbula ebyobulamu n’okukuuma abantu n’ekitiibwa kyabwe naddala abaana n’abakyala.

l Ziyamba okukendeeza ku kusaasaana kw’endwadde ezitali zimu eziva ku bujama omuli ekiddukano n’endala.

l Kikendeeza ku ndwadde z’omusujja gw’omu byenda, kuba kigoba ensowera n’ebiwuka ebirala ebitambulira ku bucaafu. l Okubeera ne kaabuyonjo ddembe lyo ery’obwebange.

ENDABIRIRA YA KAABUYONJO EY'EKINNYA

l Osobola okugyoza n’amazzi agalimu sabbuuni atta obuwuka ng’okozesa ekikuuta okutukuza. l Osobola okugiyiwamu evvu liyamba kaabuyonjo obutawunya. l Okuginyookeza ng’okozesa essanja.

l Okugibikkako kungulu oluvannyuma lw’okugikozesa. Kaabuyon jo Etuu lWako l Yambala giraavu okwewala obuwuka okukuyingira.

l Osobola okukozesa ekikuuta kaabuyonjo n’okuuta munda ebinywa by'obusajja, akawago, n'omumwa gwa nnabaana obutakosebwa.

3 Kiyamba okukuuma akabubi akali wakati w'ekyenda ekinene n'ekyenda ekitono obutakosebwa. 4 Ekozesa ebisambi okukuuma n'okuwanirira ekyenda ekinene ne kitakoowa.

5 Ku bakyala abali embuto, kikendeeza ku buzito obuteekebwa ku nnabaana. Kimuyamba n’okumuteekateeka okuzaala obulungi.

Genderera okukozesa kaabuyonjo etukula okwewala okusika endwadde omuli kandida n’ebirala. Buli mwaka ensi yonna ekuza olunaku lwa kaabuyonjo nga 19 November okulaba ng’ebyobulamu mu mawanga birongoosebwa nga lwassibwawo aba World Toilet Organisation.

Okukuza olunaku lwa kaabuyonjo kubeera kumanyisa bantu abo bonna abatasobola kufuna kaabuyonjo. Luba lunaku olukolebwako ebintu eby’enjawulo omuli okuyonja, okusomesa abantu n’ebirala. Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti, ‘Kaabuyonjo n’emirimu’. Ekigendererwa kulaba engeri ebyobulamu bwe biyinza okukosa ebyenfuna by’abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....