TOP

Mukyala wa Haruna Kitooke anobye

Added 19th November 2016

MUKYALA w’omuyimbi Haruna Mubiru, nnannyini wa bbandi ya Kream Production, anobye n’addukira mu Amerika yeekubire ekyeyo.

 Kitooke ne Raudha ku mbaga yaabwe.

Kitooke ne Raudha ku mbaga yaabwe.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

MUKYALA w’omuyimbi Haruna Mubiru, nnannyini wa bbandi ya Kream Production, anobye n’addukira mu Amerika yeekubire ekyeyo.

Kigambibwa nti, Raudha Ssonko Mubiru, muwala wa Ssonko, muto w’omugagga Guster Lule Ntakke nga y’omu ku bakyala ba Mubiru, gwe yagattibwa naye mu bufumbo mu 2009, yasazeewo agende anoonye ku kasente akawera wadde ng’abadde tali bubi.

Okuva lwe yagenda mu bufumbo abadde atunda dduuka mu Kikuubo.

Ensonda zaategeezezza nti Raudha aludde ng’ayagala agende yeekolere nga Mubiru amugaana okutuuka lwe yamugonzezza n’amukkirizisa agende.

Nga baakagattibwa, Mubiru yali mu kattu olw’ebyali bigambibwa nti Raudha yali anobye bwe yakimanya nti, Mubiru alina omukyala omulala gwe yali aganzizza nga gw’ategekedde n’amaka ge e Kabowa mu ggombolola y’e Lubaga.

Wabula mu budde obwo, Mubiru yategeeza nti amaka ago agaliko n’emizigo gya ‘boys quarters’, Mubiru yali yagazimbira mukyala we omukulu n’ategeeza nti, wadde yali yawasizza Raudha, yalaba dda Hadijah Lumala, muwala wa Moses Lumala eyali omuvuzi w’emmotoka z’empaka.

Mu April wa 2012, Mubiru yayanjulwa Hadijah eyali olubuto olukulu ku mukolo ogwaliko ebyokwerinda eby’amaanyi. Mu kiseera we yayanjulira yali yaakava e Mecca.

Ensonda zaategeezezza Bukedde nti, Raudha teyayagadde kunoba wabula okugenda okwekolerera ng’omukazi n’okukkakkanya ku bizibu ebibatabula mu maka.

Waliwo abalowooza nti, Raudha yagenze Bungereza kyokka Mubiru bwe yatuukiriddwa yagambye nti, yagenze Amerika era emboozi ye yagenze bw’eti; Bannange mukyala wange tannanoba wabula yagenda kujjanjaba mutoowe gwe bayita Sophie.

Wadde nga simanyi ssaza mwe yagenda mu Amerika, nkimanyi nti yagenda mu Amerika. Tayinza kunoba n’aleka mwana wa myezi munaana gwe yaakazaala. Agenda kukomawo mulinde essaawa yonna mujja kumulaba wano.

Bwe muba mwagala nnyinza n’okubawa nnamba kw’ali ne mumukubira mukakase nti ndi mutuufu.

Olaba n’edduuka lye bagamba nti yalitunze weeriri era tayinza kulitunda kuba lya kitaawe.

Entalo za Mubiru n’abakyala

  • Mu June wa 2013, Mubiru yasoomoozebwa Faridah eyayombera mu lonki ya Binyuma ku Equatorial Parking kyokka abantu ne bagumusalira nti yava mu ddya nga tebasobola kumwanjula nga yapasulwa Omuzungu. Oluvannyuma yayagala King Micheal omuyimbi naye n’amuvaako.
  • Mu October wa 2015, Waliwo ekifaananyi Mubiru kye yeekubisa n’omukazi nga bali mu mbeera eraga okwanjulwa kyokka Mubiru yategeeza nti oyo yali kasitoma eyamugula ayimbe ku mukolo ng’okwekubisa naye ekifaananyi, abantu baalowooza nti afunye omukazi owookusatu.
  • Omwaka gwe gumu, 2015 Haruna Mubiru yatabuka ne jjajja Ronnie Nsigo eyamulangira okumusigulako mukazi we Mary Bata ng’akyali mu Kream Band. Yeegaana n’agamba nti Bata mwana muto.
  • Mubiru muyimbi wa nnyimba za mukwano era alina ennyimba ezibuulirira abakyala nnyingi omuli, Maama, ebyaffe byaffe, bakazi bange mukkaanye ne mukwano guma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...