TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwaabi wa Gavumenti awadde ebiragiro mu musango gwa Kanyamunyu

Omuwaabi wa Gavumenti awadde ebiragiro mu musango gwa Kanyamunyu

Added 20th November 2016

Nze amasasi bwe gaamala okuvuga, ebyaddirira nnali mbirabira wala era awo nga basitula omuntu okumuteeka mu mmotoka

 Cynthia ne Kanyamunyu

Cynthia ne Kanyamunyu

Bya BASASI BAFFE

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu awadde poliisi ebiragiro ku musango gwa Matthew Kanyamunyu oluvannyuma lw’okuyita mu fayiro ye n’abalaga ebituli bisatu bye balina okuziba.

Mu bye yabalagidde okukola kuliko: okutwala mmotoka zombi, ey’omugenzi Kenneth Akena Watmon n’eya Kanyamunyu okwekebejjebwa abakugu okukakasa nti zaatomereganako n’okuzitwala mu byuma eby’ekikugu e Wandegeya okukebera oba mulimu obuganga bw’amasasi agaakubwa.

Amangu ddala ng’omuwaabi wa Gavumenti Michael Chibita amaze okuzza fayiro ku poliisi, mmotoka ya Akena yatikkiddwa ku ‘kasiringi’ ku Lwokutaano ku ssaawa 8:00 n’eggyibwa ku poliisi ya Jinja Road n’egitwala ku laabu ya Gavumenti e Wandegeya okugyekebejja ssaako n’eya Kanyamunyu gye baggye e Wandegeya ku poliisi w’ebadde ekuumirwa nayo n’etwalibwa okwekebejjebwa bateekeko lipoota z’abakugu.

Ekifo Akena(mu katono ku ddyo) weyakubirwa amasasi

 

Omuwaabi wa Gavumenti (DPP) era yalagidde poliisi okuzzaayo Kanyamunyu ne banne bonna bwe bali ku fayiro mu ddwaaliro ekkulu e Mulago baddemu okwekebejjebwa emitwe era lipoota zissibwe mu fayiro.

Gattako n’okuddayo mu kifo omusango we gwaddizibwa e Lugogo okuzuula ekyaliwo ekituufu n’abantu abaaliwo.

Akena yasooka kukolobola mmotoka ya Kanyamunyu eyali ne muganzi we Cynthia Munangwari era kigambibwa nti akanyoolagano awo we kaatandikira okukkakkana nga Akena akubiddwa essasi mu lubuto.

Baamutwala mu ddwaaliro lya Victoria University Health Centre e Kamwokya gye baamuggya okumuzza e Nakasero Hospital nayo ne bamuggyayo okumutwala mu Norvik e Wandegeya we yafiira mu kiro ekikeesa Ssande.

Yafa amaze okutegeeza muganda we John Paul Nyeko nti omusajja eyamuleese mu ddwaaliro (Kanyamunyu) ye yamukubye essasi olw’okukolobola emmotoka ye Prado TX.

Akena yali avuga Premio era nti yali ava mu ‘paakingi’ y’oku Game n’akolobola emmotoka ya Kanyamunyu.

ALINA ABAJAASI B’AKOLAGANA NABO:

Abamu ku bajulizi e Lugogo we baakubira Akena essasi baategeezezza Bukedde nti Kanyamunyu abadde atera okujja ku Game e Lugogo era w’asalira n’enviiri mu saaluuni eyitibwa Sparkles.

Mu kifo ekyo okuliraana Game waliwo omujaasi alinawo ofiisi ng’ono mukwano gwa Kanyamunyu era abadde alabwa enfunda nnyingi ng’agenze mu ofiisi y’omujaasi oyo.

Kanyamunyu 38, era alina muganda we Michael akola mu ggye erikuuma Pulezidenti ne mikwano gye abalala abajaasi, poliisi b’erowooza nti bayinza okubeera ab’omugaso mu kuwa amawulire ku Kanyamunyu n’emmundu gy’agambibwa okukozesa mu butemu wabula nga mu bitabo by’abalina emmundu eziriko olukusa, taliimu ate nga ne mu kiseera kino emmundu eyatta Akena tennazuulwa.

Poliisi yakutte baganda ba Akena okuli Moses ne Joseph bagiyambeko mu kunoonyereza kw’eriko.

Kiteeberezebwa nti Kanyamunyu bwe yamala okukuba Akena essasi, alina gwe yakubira n’amuwa emmundu agikwekwe okubuza obujulizi.

Kasiringi ya poliisi ng’esika mmotoka ya Akena.

 

Omu ku baaliwo e Lugogo nga Akena akubwa essasi yategeezezza BukeddeOnline nti: Nze amasasi bwe gaamala okuvuga, ebyaddirira nnali mbirabira wala era awo nga basitula omuntu okumuteeka mu mmotoka, mukwano gwa Kanyamunyu omujaasi alina ofiisi awo e Lugogo, nnamulengera ng’atuuka naye saamanya bye baayogera Kanyamunyu alina baganda be kyokka baamugasseeko baganda be babiri ne baggalirwa ku Jinja Road okuyambako mu kunoonyereza.

Abamu e Lugogo, Kanyamunyu bamumanyi ng’omusajja ateemanyiiza.

Mu kumusala enviiri nti ajja n’akuuma (masiini) akake akamusala, n’ettaawo (apron) ajja n’erirye, ttawulo, bbulaasi, kw’ossa ebizigo bye bamusiiga ng’amaze okusalibwa.

Bwe bamala okumusala enviiri ng’abizingako ng’abissa mu nsawo ng’adda mu mmotoka ye ng’abulawo.

Emmotoka ye atera kugyoleza mu Car Wash okuliraana essundiro ly’amafuta erya Oryx e Lugogo era w’abadde agireka n’agenda mu ssaaluuni ya Sparkles ku Game okumusala enviiri.

Mu kujja okumusala enviiri asooka kukuba ssimu kyokka bw’asanga tewali kifo w’atuula kumusala (nga bakyasalirawo abalala) nga yeeyongerayo.

Kanyamunyu ye nnannyini kkampuni ya Quantum Express Logistics’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...