TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssematimba akyattunka ne Ssekigozi mu gw'ebiwandiiko by'obuyigirize

Ssematimba akyattunka ne Ssekigozi mu gw'ebiwandiiko by'obuyigirize

Added 21st November 2016

OMUBAKA Peter Ssematimba (Busiro South) ali mu kkooti ejulirwamu mu Kampala attunka ne Stephen Sekigozi eyamuwawaabira ng’awakanya ebiwandiiko bye eby’obuyigirize.

 Peter Ssematimba

Peter Ssematimba

 Bya ROGERS KIBIRIGE

OMUBAKA Peter Ssematimba (Busiro South) ali mu kkooti ejulirwamu mu Kampala attunka ne Stephen Sekigozi eyamuwawaabira ng’awakanya ebiwandiiko bye eby’obuyigirize.

Olwaleero nga bali mu maaso g’abalamuzi basatu abakulembeddwa Steven Kavuma.

Bannamateeka ba Sekigozi abakulemberwa Rashid Ssemmambo baleese obujulizi obulala okuli lipoota y’omukugu wa Poliisi eyanoonyereza ku biwandiiko bya Ssematimba.

Obujulizi obulala y'ebbaluwa y’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB omuwandiisi wakyo gye yawandiikidde kkooti ku buyigirize bwa Ssematimba.

Bannamateeka ba Ssematimba abakulemberwa Geoffrey Kandeebe  ne M.S Ssempebwa basabye kkooti egobe obujulizi buno kubanga bonna ababuleese tekuli yakuba kirayiro nti agenda kuleeta obujulizi mu kkooti.

Omusango guwummuddemu nga guddamu ku ssaawa 9:00 ku kkooti ejulirwamu mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...