TOP

Ow'abakazi 3 bamukutte n'owemyaka 14 mu loogi

Added 21st November 2016

OMUSAJJA aleseewo bakazi be abasatu n’atwala akawala ak’emyaka 14 mu loogi. Poliisi bw’emukutte ne yeekwasa; munsonyiwe sitaani y’ankemye!

 Wambayo (ku kkono) n’akawala akaamukwasizza. Bali ku kitanda kwe beesanyusirizza mu loogi.

Wambayo (ku kkono) n’akawala akaamukwasizza. Bali ku kitanda kwe beesanyusirizza mu loogi.

Bya Vivien Nakitende

OMUSAJJA aleseewo bakazi be abasatu n’atwala akawala ak’emyaka 14 mu loogi. Poliisi bw’emukutte ne yeekwasa; munsonyiwe sitaani y’ankemye!

Amin Wamboya 31, omutuuze w’e Lugazi yasangiddwa mu loogi ya Silver Springs e Kabowa n’akawala akato (amannya gasirikiddwa) ke yasanze e Makindye.

 

Wamboya okukwatibwa kyavudde ku wa bodaboda gwe yasasudde 2,000/- okuzzaayo akawala gye yakaggye, wabula omuwala n’agenda ng’akaaba kwe kukabuuza ogubadde ne kamunyumiza ebyabaddewo.

Owa boda yatutte omuwala ku polisi e Kabowa eyasitukiddemu n’egenda mu loogi eno Wamboya n’akwatibwa.

Omuwala yategeezezza nti yabadde Makindye okumpi ne bbaalakisi ya poliisi ng’adda ewaabwe e Kkonge ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi, Wambayo n’amusaba amuwerekereko katono mu Ndeeba kuba yabadde tamanyiiyo.

Yamusuubieeza okumuwa 50,000/- abeeko bye yeegulira. Twakkaanyizza Wambayo yeewozezzaako nti kituufu omuwala yamukozesezza naye bakkaanyizza. Abas Kaweesa omuserikale eyakutte Wambayo agamba nti Wambayo yeekase ku kawala kano era ebbaluwa y’omusawo wa poliisi yalaze nti omuwala yakoseddwa.

Wambayo yagguddwako emisango ku fayiro SD41/06/11/16.

Abamu ku booluganda lwa Wambayo abazze ku poliisi e Kabowa baaguddewo ekigwo, okuwulira nti omuntu waabwe asibiddwa lwa kusobya ku kawala ne bategeeza nti alina abakyala basatu mu kibuga Lugazi abamanyiddwa mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amanda

Emigaso gy'amanda

Emigaso gy'amanda Ng'oggyeeko okugafumbisa, amanda gazuuliddwaamu emigaso. Gazigula olususu n'okugoba enkanyanya....

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...