TOP

Abaawule ba Central Buganda bakyusiddwa

Added 23rd November 2016

OMULABIRIZI wa Central Buganda Bishop Jackson Matovu akoze enkyukakyuka sinziggu mu baawulebe naawa naabawuule bataano obwa Cannon nalangirira nti baakutuuzibwa mu Jan womwaka ogujja nga 15.

 Omulabirizi Jackson Matovu (mu kakobe) ng'ayogeraganyamu n'abawule

Omulabirizi Jackson Matovu (mu kakobe) ng'ayogeraganyamu n'abawule

Bya Paddy Bukenya

OMULABIRIZI wa Central Buganda Bishop Jackson Matovu akoze enkyukakyuka sinziggu mu baawule be naawa naabawuule bataano obwa Cannon nalangirira nti baakutuuzibwa mu Jan womwaka ogujja nga 15.  

Bishop Matovu ekyukakyuka zino azikoledde ku luttiko eKanoni mu Gomba mu lukiiko lwobulabirizi olusembyeyo mwakyusirizza abaawule abawerako naalonda ne ba kanoni bataano okuli Rev Steven Ssekamatte (Kiwawu), Rev. Wilberforce Male, Rev Paul Ssekweyama, Rev Paul Mukiibi ne Rev David Lubuulwa nabakuutira okuweereza nobwesimbu.  

Abaawule abakyusiddwa kuliko Rev Paul Ssekweyama abadde omwawule we Nsambwe mu Gomba atwaliddwa eKammengo mu Mpigi ate Rev Lujja abadde e Kammengo natwalibwa e Kassaka, Rev Paul Mukiibi abadde Ssabadinkoni we Kasaka akyusiddwa natwalibwa eNsambwe, Rev Steven Muwonge abadde ssabadinkoni we Maddu natwalibwa e Mpenja ate Rev Shadrack Kiwanuka abadde eMpenja natwalibwa eMaddu era mu Gomba.

Abamu ku baawule abeetabye mu lukiiko e Kasaka

 

Rev Lubuulwa omwawule we Bujjo agudde mu bintu Bishop Matovu bwamuwadde ekifo kyobwogezi bwobulabirizi ekitabaddewo gattako ekyobuwandiisi bwobulabirizi wabula Rev Geoge Kaliisa abadde omwawule we Maddu naawummula obuweereza.

Matovu agambye nti okukyusakyusa mu baawule si musango wabula kwongera ku mpeereza mu bulabirizi era naasaba abakyusiddwa okuweereza nessanyu.

Mu lukiiko lwe lumu Bishop alaze byakoledde obulabirizi bwa Central Buganda mu myaka 16 gyamaze ku buweereza buno okuli okuzimba ofiisi z’obulabirizi, okudaabiriza lutikko n’okuzimba ennyumba y’obulabirizi gyabadde atandiseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...