TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali omuserikale alaze poliisi w'erina okuggya emmundu eyatta Akena

Eyali omuserikale alaze poliisi w'erina okuggya emmundu eyatta Akena

Added 26th November 2016

Eyali omuserikale alaze poliisi w’erina okuggya emmundu eyatta Akena

 Egesa yali wa poliisi kati akola ku kunoonyereza.

Egesa yali wa poliisi kati akola ku kunoonyereza.

OWApoliisi akubye ebituli mu baserikale banne abali mu kunoonyereza ku musango gwa Matthew Kanyamunyu ogw'okutta Kenneth Akena n’ategeeza nti emmundu ebagulumbya emitwe, eri mu mikono gy'abaserikale abaasooka mu kifo we baakubira Akena amasasi.

"Ku Rugby Club e Lugogo waliwo poliisi n'abaserikale babeerawo ggwe weebuuze kisoboka kitya akavuyo okubeerawo abaserikale ne batadduukirira kulaba kibaddewo omuntu n’atwalibwa mu ddwaaliro agambibwa okubeera omutemu ne bamukwatira Wandegeya”, ensonda okuva ku poliisi ya Jinja Road bwe zaategeezezza.

Zaagasseeko nti, wateekwa okubaawo abaserikale ate abakugu mu by'okunoonyereza abaagenda e Lugogo ne baggyawo ekisosonkole ky'essasi n'emmundu ne bagibuzaawo n’agamba nti poliisi bw'eba etunudde mu bitabo byayo abaserikale mwe bawandiika nga bagenda ku mirimu, ejja kuzuula omuntu alina emmundu.

Wano, omukugu mu kunoonyereza ku misango, David Fredrick Egesa eyali mbega wa poliisi nga kati yeekozesa mu kunoonyereza ku misango mu kkampuni ya Missing Link mu Kampala w’asinzidde n'ategeeza nti okumaliriza omusango guno n'avunaanibwa asobole okusalirwa mu kkooti, poliisi amaanyi erina kugamalira mu kunoonyereza kw'ebyo ebyatuukawo nga Akena amaze okukubwa essasi ne mu kkubo ng'atwalibwa mu ddwaaliro.

Egesa yagambye nti, emmundu eyakozesebwa okutta Akena bw’eba ebuze, ekyo tekiremesa musango kugenda mu maaso kubanga waliwo omulambo gw'omuntu eyafa mu ngeri emenya amateeka n'essasi eryagusangibwamu ebyo bisobola okumala okuzimba omusango.

"Ekyavaako omuntu okufa kimanyiddwa n'obukakafu weebuli nti yattibwa buttibwa nga n'ekissi ekyakozesebwa okutta kimanyiddwa, ebyo by'ebikulu mu musango”, Egesa bwe yagambye.

Yagambye nti poliisi n'ebw’eba ezudde emmundu eyatta, Kanyamunyu ajja kugyegaana kubanga ye mu kwewozaako kwe yategeezezza nti takwatanga ku mmundu mu bulamu bwe bwonna ate ne poliisi temulina mu bantu be yali ewadde emmundu.

Cynthia, Matthew Kanyamunyu ne Joseph Kanyamunyu

 

"Okuzuula emmundu eyo, kijja kuyamba Gavumenti nti eba evudde mu mikono emikyamu era tejja kuddamu kutta muntu mulala." Egesa bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Kanyamunyu mu mbeera eno, alina omulimu munene okunnyonnyola amatize omulamuzi nti teyali mu kifo nga Akena akubwa amasasi kyokka kinajjukirwa nti, Kanyamunyu ye yatwala Akena mu ddwaaliro n'omugenzi n'amulumiriza nti ye yali amukubye essasi.

"Mmotoka ya Akena, yali etunudde mu mulyango oguyingira mu Rugby Club naye bambega ba poliisi baagisanga etunudde mu kibanda kya Malik poliisi erina okunoonyereza ani yalina obuvunaanyizibwa ku mmotoka eyo nga omugenzi amaze okutwalibwa mu ddwaaliro kubanga n'ebisumuluzo byasangibwa mu mmotoka ya Kanyamunyu.

Byatuukamu bitya, emmotoka ani yagizikiza n’ebirala birina okumanyibwa." Egesa bwe yategeezezza.

EBIRINA OKUTUNUULIRWA ENKALIRIZA

1 Egesa yagambye nti poliisi erina okwekenneenya enneeyisa na buli kintu Kanyamunyu kye yakola okuva akabenje lwe kaagwawo okutuusa lwe yatwala Akena mu ddwaaliro.

2 Okunyweza obujulizi obukakasa nti waliwo obutakkaanya wakati wa Akena ne Kanyamunyu nga busibuka ku kabenje.

3 Poliisi erina okunoonyereza ku byafaayo bya Kanyamunyu okuva obuto okutuusa lwe yazza omusango bigattibwe ku fayiro.

ENGERI AKENA GYE YAKUBWA ESSASI

Egesa agamba nti, ebibuuzo byonna ebyebuuzibwa ku ngeri essasi gye lyakubwamu byangu okuddamu n’ategeeza nti lyakubwa omuntu omukugu eyali ategeera ky’akola okusinziira ku engeri gy'alabamu ebintu. "Sinnaba kulaba ku lipooti ya musawo naye okusinziira ku kye nsuubira, Akena yali wansi nga ng’omutemu ayimiridde wagguluko n'akuba essasi nga likka wansi." Egesa bwe yagambye.

Yagaseeko nti, essasi bwe likubwa nga likka wansi, lisibira mu ggumba ly'omu kiwato ne lisima ne Akena ayinza okubeera nga bwe yakubwa.” Lwaki teya vaa mu musaayi ? Ensonda mu poliisi zannyonnyodde lwaki Akena teyavaamu musaayi mungi ng'akubiddwa essasi ne lwaki teryafuluma mu mubiri.

"Essasi liba n'amaanyi mangi nga litambuddeko akabanga ate ne ligwaamu amaanyi nga litambudde okumala ebbanga eddene ku nsonga ya Akena, omuntu bw’akuba essasi ng’emmundu agikutaddeko, amaanyi gaalyo gabeera batono n'engeri gye libeera liyingira mu kintu ekigonda liggwaamu mangu amaanyi ne lisirikira omwo”, bwatyo omu ku boofiisa ba poliisi abategeera eby'emmundu bwe yagambye.

Yagasseeko nti, essasi bwe lyayingira mu mubiri gwa Akena, lyaziba ekituli ekifuluma n'abanga yafulumya omusaayi mutono nnyo ogusinga ne gudda munda olw'ensonga nti gwali tegulina we guyitira kufuluma.

EKIKA KY’EMM UNDU TEKINNAZUULWA

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza nti, tebannaba kuzuula kika kya mmundu omutemu gye yakozesa n’agamba nti essasi eryakubwa Akena, lyaweerezebwa mu laabu za poliisi era balinda bakugu bababuulire ekika ky'emmundu eyakozesebwa. Yagambye nti obuzibu bwe balina ekisosonkole ky'essasi tebaakifuna naye balinda lipooti enaafuluma balyoke bamanye emmundu eyakozesebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...