TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enjala esannyalaza emirimu mu katale k'abalimi e Kinoni

Enjala esannyalaza emirimu mu katale k'abalimi e Kinoni

Added 28th November 2016

Enjala esannyalaza emirimu mu katale k'abalimi e Kinoni

 Abamu ku basuubuzi nga balaga amabidde ge basuubula kati mu kifo ky'amatooke

Abamu ku basuubuzi nga balaga amabidde ge basuubula kati mu kifo ky'amatooke

Bya Florence Tumupende

WADDE ng'ekuba egenda eddamu okutonnya mu bitundu bya Uganda ebimu era ng'enemmere etandise okuddamu okubala naye akatale k'abalimi e Kinoni mukyajjuddemu mbidde n'endiizi.

Abasuubuzi abobugaali ne piki piki kwogatta ab’emmotoka baasombanga amatooke n’ebika by’emmere ebirala kati bakeera kuleeta mbidde za mussa,kivuuvu n’endiizi bye bajjuza mu katale.

Abasuubuzi abatuukiriddwa bategeezeza nti mubalimi gyebasuubulanga amatooke mukiseera kino ensuku zaakamizza olw’okukanduka omusana ogwazookya ate n’emmere enkalu nga
lumonde,ensujju ne muwogo tebinabaayo.

 

 


Akatale kano kasangibwa mu kabuga k’e Kinoni mu ggombolola y’e Kisekka mu disitulikiti ey’e Lwengo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.


Wabula abasuubuzi bagamba nti n’amatooke agalabikayo, bannanyinigo tebageggyaako so nga n'abasobola okugatunda ku nsuku ez’amanyi bagaseera nga ettooke erimu ku mugogo balitunda wakati 15000/- ne 20000/- ekitali kyangu  kugasuubuza nabo babeeko kyebafuna.

Wabula ateera mubirime ebirala okuli ennyanya,emboga,obutungulu n’enva endiirwa ebyaletebwanga mu katale kano tebikyalimu nga n’emidaala gyabyo kati abasuubuzi bafumbiramu buugi ate nga nagyo gikutte mu mbinabina.


Wano bawalampye abakulembeze babwe okuli sentebe George Mutabaazi okuba nga tebabayambye ku ddagala ly’ebiwuka ebivudeko okukandula ensuku,awamu n’okufuula okufukirira ebirime okuba okwenkizo enjala efuuke lufumo mu Lwengo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...